Jara Islamic Junior School bolesezza ebitone.
Jara Islamic Junior School erisangibwa e’Nabbingo mu Town Council ya Kyengera bolesezza ebitone ebyenjawulo omuli okusoma Quran, okuyiiya, okukola emizannyo nebirala nga bino byonna bikomekkereddwa n’okutikkira abayizi abamaze okusoma ‘Nursery’.
Bano bolesezza empisa , enkola saako eneyisa wano mu Buganda nga mulimu nokulaga engeri yokuteekateeka emmere .
Bannanyini masomero n’abagakulira mu Uganda bakubiriziddwa okuliisanga abaana n’okubasuza obulungi nga kino kibayambako abayizi obutalumbibwa ndwadde ezireeta okutaatagana mukusoma ekivaako oluusi nobutakola bulungi mubibuuzo byabwe.Obubaka buno bubaweereddwa Hajj Yasiin Kawuma omutandisi wessomero lya Jara Islamic Junior School erisangibwa e’ Nabbingo
Hajj Yasiin Kawuma (Director)
Abayizi abasinze mukusoma Quran abasatu baweereddwa basare nga bagenda kuweererwa ekitongole ekya “Direct Aid Uganda” okutuuka lwebanamaliriza emisomo gyabwe.
Wano Yasiin Kawuma walagidde abazadde enkizo eri mukusomesa abaana eddiini nekyokulabirako ekyabano abagenda okuweererwa.
Abadde omugenyi omukulu kumukolo guno omu kubakulembeze mukitongole ekya “Direct Aid Uganda” Nabongho Ibrahim awadde amagezi. Abayizi abaweereddwa basare obutagayaara mu kusoma Quran era bongeremu amanyi era nasaba abantu n’ebitongole ebiyambako abaana mukusoma obutabakomyanga mukkubo oba okubaweererako ebitundu wadde nga nakyo olumu kiyambako.
Ono era alaze nti abayizi abatwala amasomo abiri ediini ne sekyula babeera bankizo nnyo munsi era balina enjawulo yamanyi n’abo abasoma oluzungu lwokka.
Omukolo guno gwetabiddwako abagenyi abenjawulo omuli bannabyabufuzi , bannadiini nabalala.
Bya Ssali Nasif