Kasangati Town Council,Kyadondo East Human Rights day.
Atwala ebyobulamu mu ssaza lya Ssabasajja erya Kyadondo Dr. Frank Ndugga asabye abantu bulijjo okufaayo eri obulamu bwabwe kubanga kino keyekijja okutaasa obulamubwabwe.
Dr. Nduga bino abyogedde asinziira mu Gombolola ye’Nangabo Mutuba gumu bwabade omugenyi omukulu ku lunaku olwategekeddwa okubangula abantu ku bulamu bwabwe wamu neddembe ly’obuntu.
Dr. Ndugga asabye abantu okukuuma obuyonjo wamu nokufaayo ku byebalya.
Yye Ssentebe wa kakiiko k’eddembe ly’obuntu Ku District ya Wakiso Elly Kasirye asabye abakulembeze bulijjo okuteekateeka pulogulaamu eziyamba abantu.
Ono asabye abantu okwenyigira mukulwanirira eddembe ly’obuntu.
Bo bakansala be Kasangati abateeseteese olusiisira luno okuli Maama Kiteezi Hon. Juliet Nanteza ne Mukasa Fred Kiku bategezeza nga bwebateeseteese omusomo guno okuyamba abantu kubibasoomoza.
Yye Hon. Mukasa Fred Kiwala Kiku asuubiza okwongera okuleetera abantu emisomo gino okubayitimula naddala munfuga egoberera amateeka kibayambe mumbeera zabwe ezabulijjo.
Omusomo guno gwetabidwako abakulembeze okuli councillor Nakibinge Micheal okuva e Wattuba,Hon. Mudde Dawda,Hon. Tushabe Margaret,Hon. Axam Katerega, Hon. Angelo Kanyabo wamu ne Banamateeka.
Bya Mukasa Fred Kiwala Kiku