Kyadondo SS babikwasizza Allah.
Abayizi 387 bebagenda okutuula ebigezo ebya UACE ebya S.6 ebyakamalirizo Ku somero lya Kyadondo SS erisangibwa e’Matugga,era bano bakubiriziddwa okukulembezza n’okukola buli kimu nga besigamidde Allah.
Bino bigambiddwa Sheikh Ismail Muhammad Mayambala bwabadde akulembeddemu E’Duwa eyokusaba Allah akusobozesa abaana bano okukola obulungi mubibuuzo.
- January 2025
- December 2024
- November 2024
- October 2024
- September 2024
- August 2024
- July 2024
- June 2024
- May 2024
- April 2024
- March 2024
- February 2024
- January 2024
- December 2023
- November 2023
- October 2023
- September 2023
- August 2023
- July 2023
- June 2023
- May 2023
- April 2023
- March 2023
- February 2023
- January 2023
- December 2022
- November 2022
- October 2022
- September 2022
- August 2022
- December 2017
- March 2015
Sheikh Mayambala akubiriza abazadde okubuuliri ennyo abaana bano nga bazeeyo ewaka, okubalaga emirungi ebiri mu kukola nokubayigiriza emirimu.
Ate ye omubaka MU parliament owa Katikamu South Hon. Hassan Kirumira alabudde abayizi bano nti balina okwongerayo emisomo kuba ensi gebagendamu yetaaga bayivu.
Ono era abagumizza nti byebalaba MU ggwanga tebalina kubitya wabula balina kubyenganga kuba era bebalina okubikyuusa.
Ate omukulu w’essomero lino Hajj Ismail Waliggo asabye abazadde okukuuma ennyo abaana ,babewaze okukozesa ebiragalalagala saako nokukozesa emitimbagano mubukyamu.
Abayizi okwetoloola eggwanga lyona baakutandika okukola ebibuuzo ebyakamalirizo ebya UACE (S.6) sabiiti ejja.
Bya Ssali Nasif