Lufuka Quality Islamic Pri. Sch.- Ndejje basabidde abagenda mubigezo.
Abazadde bajukiziddwa bulijjo obutagayaalirira baana babwe okubawa omusingi omulungi ogw’ebyensoma naddala amasomero agasambisa amagulu abiri.Obubaka buno abazadde bubawereddwa Dr. Abdul Nasser Kasamba omusawo omukugu mukukebera omusaayi nendwadde zonna eziyita mumusaayi okuva muddwaliro lya Mulago.
Okwogera Bino asinzidde kussomero lya Lufuka Quality Islamic Nursery and Primary School e Ndejje Mirimu Zone mu Wakiso nga lino ly’ettabi lya Lufuka Islamic Primary School bwebabadde basabira abayizi babwe abagenda okutuula ebigezo byabwe eby’ekyomusanvu ebya PLE ne IPLE.
Dr. Kasamba akalatidde abazadde naddala abasajja okuwa abana babwe obudde nokubabeererawo mumbeera zonna kubanga kyamugaso nnyo mubulamu bwabaana. Avumiridde abazadde abasudde obuvunanyizibwa bwabwe.
Abayizi ba p.7 baakutandika ebigezo byabwe eby’akamalirizo kubbalaza nga 4/11/2024 nessomo lyokubulirirwa olwo babimalirize kulwokuna nga 7/11/2024.
Omutandisi wessomero lino erya Lufuka Quality Islamic Primary School Sheik Amir Katudde asiimye ababawadde abaana nabasuubiza nti baakubawa ekisinga nga bwebazze bakola emyaka gyonna. Agambye nti bakyagenda mumaaso nokunnyikiza enkola ya E-learning mumasomero g’obusiramu gonna mu Uganda era asabye bananyinni masomero okwaniriza enkola eno. Akalatidde abazadde obutekobaana nabasomesa kudyeekadyeka baana kubabbira bibuuzo kubanga kikyamu era kyandiviirako okusazisaamu ebigezo byabaana.
Ku duwa yemu eno abayizi bolesezza ebitone mu kusoma Quran,Hadith,ebitontome ebikwata kubyensoma,okwogera Oluwalabu nebirala.
Eduwa eno yetabiddwako ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo by’eddiini ekya IPLE Board Sheik Ismail Kazibwe, Sheik Umar Gugumiza okuva mukitongole kya Idaadi and Thanawi Examinations Board , ssentebe wa Link of Islamic schools sheik Ali Lukyamuzi,Ssabasomesa Umar Dimba,omu kubatandisi ba ibun Hamis Sheik Siraje Kasirye nabalala.
Bya Tenywa Ismail Idirisa