Politics

Mbogo Junior School Bolesezza ebikwata Kubusiramu.

Abazadde bajukiziddwa okusomeseza abaana mumasomero agalimu ediini n’ebyensi kulwebiseera by’abaana ebyomumaaso ebitangaavu. Omulanga guno gubakubiddwa omusomesa wa Dawa omugundiivu muggwanga era omusomesa wa Daawa Ku Pearl Fm Sheik Abdul Karim Mugendera.

Sheik Abdul Karim Mugendera okwogera bino abadde omugenyi omukulu kusomero lya Mbogo Junior School Kawanda Nakyesanja mu district ya Wakiso nga lino liri wansi wamasomero ga Mbogo Schools,kumukolo abayizi b’essomero lino kweboleserezza ebitone mukusoma Quran,Hadith,empisa z’obusiramu,enyambala y’obusiramu,okusoma Khutuba,okwogera oluwarabu,ebitontome nebirala bingi.

Sheik Abdul Karim Mugendera agambye nti ennaku zino ensi eweddemu ensa nempisa naye nga kivudde kubazadde abesuliddeyo ogwannagamba okusomesa abaana ediini nagamba nti kino kyakabenje ddala eri abana n’ensi yonna.

Alhajji Sheik Abdul Noor Ddamulira kulw’abatandisi bamasomero ga Mbogo schools asiimye abazadde abawagidde ebbanga lyebamaze mukisawe kyebyenjigiriza. Era akalatidde abazadde okubongera abaana kubanga ediini kati bajikwasiza manyi kulwabaana abesiimisa,nasuubiza nti bakwongera okukuuma omutindo.

Akulira esomero lya Mbogo Junior school Kawanda Lwanga Yusuf agambye nti olunaku luno olwa Arabic Cultural Day balutekawo okusobola okuzimba abayizi babwe abasiramu okumanya amateeka g’eddini nokutambula nga batya Allah basobole okukula nga bampisa era abatya katonda nategeeza nti omulamwa gw’ediini,empisa,obuyiiya nokutendeka omuyizi okusobola okweyimirizawo byebimu kubibafudde ebyenjawulo mukisaawe kyebyenjigiriza.

Abayizi bano bavuganyiriza munyumba zabwe era essizine y’enju ya Namakula n’obubonero 290,nedirirwa Nakanyike 281,Nakamanya nekwata ekyokusatu 279, Mutesi nedda mukyokuna 279 ate Nakimera nekwata ekyokutaano nobubonero 264.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *