Politics

Mbogo Mixed Ss Kawanda egyaguzza emyaka 25 egy’ebyenjigiriza.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza nnyo abatandisi b’esomero lya Mbogo Mixed Secondary School Kawanda Nakyesanja eriri wansi w’amasomero ga Mbogo Schools olw’etofaali lyebagasse ku by’enjigiriza bya Uganda. Agambye obwakabaka bwa Buganda buwagira nnyo eby’enjigiriza era butambulira wamu nebanabyanjiriza. Katikiro Okwogera bino asinzidde Kawanda mu district y’eWakiso bwabadde omugenyi omukulu kumukolo essomero lya Mbogo Mixed Secondary School Kawanda kwelijagulizza okuweza emyaka 25 egyobuwanguzi muby’enjigiriza bya Uganda.

Mububaka bwe bwatise owekitiibwa Cotilida Nakate minisita wa Kabaka ow’ebyobulamu,ebyenjigiriza ne yaafesi ya Maama Nabagereka asabye abazadde okuweerera abaana mumasomero agalina omukululo n’omusingi omunywevu nga Mbogo SS Kawanda kubanga kikulu nnyo mubulamu bw’omwana anabeera omuwanguzi.

Mbogo Mixed Secondary School Kawanda Nakyesanja liri wansi w’amasomero ga Mbogo Schools ng’abatandisi baago kuliko Hajji Sheik Abdulnoor Damulira,Dr Hajjat Zauja Ndifuna Matovu,Dr. Ibrahim Matovu wamu ne Hajji Mawazi Lulagala Takuba.

Ebikujjuko bya Mbogo Mixed bino biyindidde kusomero E Kawanda Nakyesanja mu district ya Wakiso era nga wabaddewo n’okwolesa ebitone ebyenjawulo omuli okusoma Quran,okuzanya emizannyo ejikwata kubyenjigiriza,katemba,ebitontome okwo tekako olusiisira lw’ebyobulamu omubadde okebera endwadde ezenjawulo nokujanjaba.

Ssentebe w’olukiiko lw’abatandiisi ba mbogo schools Hajji Lulagala Mawazi Takuba asiimye abazadde abatademu obwesige emyaka gino 25 Mbogo Mixed gyemaze nabasuubiza nti bakusigala nga bakuumye omutindo.

Dr. Hajjat Zaujah Ndifuna Matovu omu kubatandisi bamasomero gano agambye nti bakusigala nga babangula nokuwanika omumuli gw’empisa,ediini n’obuntu bulamu mubaana b’eggwanga.

Omukulu w’esomero erya Mbogo Mixed SS Kawanda Hajji Abdul Hamid Lumu asiimye abazadde,abakozi,abaasomerako mussomero lino wamu n’abatandisi ba Mbogo Schools ababafude kyebali olwaleero nagamba nti emyaka gino bajituseeko wakati mukwewayo,okugumikiriza,wamu nokutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe. Agambye nti omutindo Mbogo Mixed kweri olwaleero bwebwesigwa mu Allah wamu nokolera awamu.

Mbogo mixed wewerezza emyaka 25 nga yegirisiza mukisawe kyebyenjigiriza ezze ewangula ebikopo ebisoba mu 60,emidaali wamu N’engule ezenjawulo ebiwera okuva mumizanyo n’ebintu ebyenjawulo byebazze betabamu.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *