Minisita Kabanda awaddeyo Enkoko 2000 eri abawalimu.
Minisita akola kunsonga za Kampala n’emirirano Hon. Dr. Hajjat Minsa Kabanda atuukiriza ekisuubizo kyeyakola bwawaddeyo enkoko 2000 beddu eri ba Imam neba Amirah mu Kampala ne Wakiso okusobola okufunamu ensimbi okwongera kunyingiza mumaka.
Minister gyebuvuddeko yawa obweyamo eri ba Imam n’abakulembeze b’abakyala abasiramu okubakwasizako nabo basole okwekulakulanya n’okwegya mubwavu. Minisita yasuubiza buli mwezi okwata kumusaala gwe aguleko enkoko 2000 buli mwezi okuyamba kubawalimu neba Amirah mu Kampala ne Wakiso okwongera kunsako mumaka gabwe.
Minister Minsa yakizuula nti abawalimu bangi n’abakulembeze b’abakyala abasiramu bangi tebalina kyebakola ekintu ekyakabenje kwekuvaayo n’enkola eno egasa abantu.
Kumulundi ogusookedde ddala ba Imam 100 okuva e’Wakiso neba Amirah 100 okuva mu Kampala bebawereddwa ku nkoko zino e 2000 ezisoose okugabibwa olwaleero.
Omukolo gw’okukwasa abawalimu enkoko zino neba Amirah gukoleddwa omukwanaganya wenteekateeka eno era District Kadhi wa Wakiso Sheik Elias Kigozi Nkangi nga era guyindidde mu Kampala kusomero lya Nakivubo Blue Primary School.
Sheik Kigozi asiimye nnyo minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda olw’omutima ogw’ekizadde era omugabi namusaba obutagyanga okwo. Sheik Kigozi asabye ba Amirah neba imam abaweereddwa enkoko zino okuzikwata obulungi basobole okufunamu ekisinga n’okwongera okulwanyisa obwavu nabasaba okusabira ennyo Hajjat Minsa Allah amukuume era amwongere olwokufaayo kubantu be.
Sheik Kigozi agambye nti okusinzira ku minisita Kabanda enkoko 2000 zezijja okugabibwanga buli mwezi eri abawalimu n’abakulembeze b’abakyala abasiramu abenjawulo mu Kampala ne Wakiso okosobola okulwanyisa obwavu mumaka.
Bya Ismail Tenywa