Politics

MPUUGA AGAANYE EBYA’BABAKA OKUKUKUTIRA EWA MUSEVENI

Speaker wa palamenti Annet Anita Among yegaanye okubaako kyamanyi wadde okufuna ekiwandiiko ekimutegeezako nga omukulembeze w’eggwanga bweyetaaga okusisinkana ababaka abatuula ku kakiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byembalirira

Ono okwogera bino kidiridde akulira oludda oluwabula government mu palamenti Mathius Mpuuga okuvaayo ne yemulugunya nga ayagala okumanya wa president museveni gyagya obuyinza okuyita obukiiko bwa Palamenti okumusisinkana nga palamenti tetegeezeddwa mu butongole.

Mpuuga agamba ababaka baakulembera abatuula kukakiko k’embalilira baamutegezeza nga omukulembeze bweyabayise mu makaage boogere ku misolo emigya egigenda okuleetebwa mu mwaka gwebyensimbi 2023/24. wasinzidde naasaba Speaker Among okukomya omukulembeze okuyita nga obukiiko mu maka ge bwebuba buli mukukwasaganya ensonga z’eggwanga

Wabula Sipiika Among ategeezezza nga bwatanategeezebwa ku nsonga eno ng’oba olyawo abagenda okumusisinkana bali ku nsonga za kibiina,wabula naawa obweyamu okutegeeza akulira oludda oluwabula gavumenti ku nsonga eno singa anaweebwa ebbaluwa okuva ewa president ku nsonga eno.

Bino webijidde nga akakiiko ke by’amateeka akakulemberwa omubaka we Gomba omukyala Robinah Rwakojo kakasisinkana omukulembeze ku bago ly’ebisiyaga elyali limusindikiddwa.

Bya Joweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *