Mubuulire abantu akabi akali mu kufumbiza abaana abato.
Gavumenti esabidwa okwongera amanyi okumanyisa abantu akabi akali mukufumbiza abaana abatanaba kwetuuka saako nokwongera okubamanyisa eteeka erikugira okufumbirwa ngatonaweza myaka 18.
Okusaba kuno kukoleddwa ekitongole kya Center for Domestic Violence Prevention ngakino kiziyiza busambatuko mu maka nga okusinziira kukunonyereza kwebaakola mumwaka oguwedde bakizuula nga omuwendo gw’abaana abafumbirwa ngatebanaba kwetuuka guli waggulu nyo nga abaana abobuwala ebitundu 34% bafunbirwa ngatebanaweza emyaka 18, ate ebitundu 7% bafumbirwa ngatebanaweza myaka 15 nganebitundu 6% bebaana abobulenzi abafumbirwa ngatebanaweza emyaka 18 ngabano bafunbirwa olw’esonga ezitali zimu omuli abo abafumbirwa ngabagadde nabo abafumbizibwa ngatebagadde ,ezikiriza ezenjawulo ,obwavu obuyitiridde saako n’esonga endala.
Okusinziira ku Anna Nassamula “programmes manager”, ebitundu ebikyasinze okweyorekeramu ebikolwa bino mulimu Wakiso ,Mpigi , Gulu ,Mbarara nebitundu byomumambuka, kati bano bagamba singa gavumenti eyongera amanyi mukumanyisa abantu akabi akali mukufumbiza abaana nga tebanetuuka kisobola okumalawo ekizibu kino.
Bino okubyogeera basinzidde mumusomo gwenakku ebbiri gwebategeza e’Kamwokya nekigendererwa ekyokwongera okumanyisa bannamawulire ebyo byebazudde. Mukononyereza saako nokwagala okukwatira awamu mukubunyisa ejiri yokwatira awamu mukulwanyisa ebikolwa byokufumbiza abaana abatanaba kwetuuka.
Bya Bulyaba Hamidah