Politics

Mukkirize gavumenti egeme abaana bamwe.

Ekitongole ky’ebyobulamu mu ggwanga kivudeyo nekirabula abo bonna abakyagenda mumaaso nokubuzabuza bannayuganda okubalemesa okugemwa edwadde ezitali zimu munteekateeka za gavumenti zetekawo.

Kinnajjukirwa nti emirundi ejisinga gavumenti bwereta enteekateeka z’okugema naddala okwekikungo bannansi banji bavaayo nebasimbira ekuuli enteekateeka zino olw’endowooza zabwe saako nenzikiriza ezenjawulo abakulu mukitongole eky’ebyobulamu kyebagaemba nti abakola ebyo bazingamya enteekateeka za gavumenti nokuzizza emabega wano webaviirideyo nebategeza eggwanga kukabaate akali mubutegemessa ndwadde era nebalaga n’obizibu eri abegemesezza okwetaba mwabo abategemeseza.

Wano webasinzidde nebategeeza nti singa gavumenti enakwata abo abasaasaanya ejiri y’okubuzabuza abantu obutegemesa bajja kuvunanibwa.

Bino byogedwa Dr.Henry Kyobe omusawo omukugu kubyokugema endwadde nga asinzidde mulukungaana lwabanamawulire abasaka amawulere ag’ebyobulamu olubadde kukitebbe kyekibiina mwebegattira ekya Health Journalist Network Uganda e’Kamwokya .

Dr.Kyobe agamba okugema endwadde yemu kunkola gavumenti gyesobula okuyitamu okuziyizza endwadde ezitali zimu ezitawanya abantu.

Ate ye prof. Posiyano Kalebu anyonyodde kumitendera ejiyitwamu okunonyereza kuddagala lino erigema abantu, agamba bayita mumitendera ejiwereko mukawefube ow’okulaba nga bafulumya eddagala erituukana nomutindo era eritakosa bulamu bwabantu.

Bya BULYABA Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *