Politics

Mukozese Tekinologiya mubintu ebibagasa- Thomas Tayebwa

Amyuuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa akubirizza abantu okukozesa amagezi ag’ekikugu (tekinologiya) ngabenyigira mubintu ebibakulaakulanya okusinga okumweyambisa mubitagasa

Bino Tayebwa abyogeredde ku matikkira ag’omulundi ogwomunaana aga settendekero wa Victoria ku Speke Resort e Munyonyo kwebatikiriridde abayizi abawerera ddala 1471.

Sipiika Tayebwa asabye abayizi abatikkiddwa okweyambisa amagezi gebafunidde mu settendekero ono bakole ebintu ebibagattako n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu okusinga okumalira ebiseera ku mitimbagano nga bakola ebitabazimba

Ye kyansala wa Victoria University Professor Opuda Asibo John asinzidde ku matikkira gano nakuutira abayizi okweyisa obulungi ngabatuuse munsiike yokukola

Ye omubaka wa palamenti owa Kalungu West era nga ye minisita w’ebyenjigiriza mu gavumenti empabuzi Joseph Gonzaga Ssewungu nganaye abadde ku matikkira gano asabye nti gavumenti esaana okwongera amaanyi mu byenjigiriza

Bya Bulyaba Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *