Politics

Mukulize abaana mudiini n’empisa- Dimba Umar.

Abamu kubasomesa abakugu bakubye toochi kunsonga ezivireddeko abazadde obutajjumbira kuzaayo baana kumasomero mulusoma olusembayo. Ensonga bazesigamiza kumbeera y’ebyenfuna ettali nungi muggwanga.

Okusinziira kussabasomesa omukugu mubyenjigiriza era omusomesa wokubala omukuukutivu Dimba Umar akubirizza abazadde okwogera nebananyini masomero okubawaayo akadde kwebanasobola okusasulirako ebisale by’amasomero,okusinga okutuuza abaana ewaka.

Mungeri yemu Dimba akalatidde abazadde okukuliza abaana babwe kudiini wamu nokubeera ab’amazima munsi eno ejudde okusomozebwa.

Dimba Umar nga yemukulu w’amasomero ga Lufuka Islamic Primary Schools E Ndejje mu Wakiso agambye nti olusoma lwa taamu esembayo luze nga buvunanyizibwa bwabazadde okwatagana nebananyini masomero okulaba nti abaana tebakerewa kuddizibwayo kubanga luno lwerusoma olusalawo kuddaala ly’omwana lyaddako.

Dimba Umar mungeri yemu asabye abazadde obutabuusa baana bibiina kubanga kino kikosa ebiseera by’omwana ebyomumaso. Mungeri yemu ono akuutidde abazadde okwettanira eby’obulimi nga bakozesa ennima eyomulembe kubanga kati ebyobulimi byebisigaddemu ku ssente olwo basobole okwenganga embeera y’ebyenfuna etali nnungi mu ggwanga.

Bino bijidde mukaseera nga abayizi mu ggwanga lyonna bazeemu olusoma lwabwe oluggalawo omwaka 2024. Mubuufu bwebumu Dimba akubirizza bananyini masomero okuliisa obulungi abayizi kumasomero kubanga byebimu kubiviirako abaana okkola obulungi mubibiina nemubigezo.

Ono agambye nti enguzi eri mu ggwanga gyetulaba yava kubazadde babo abakenuzi obutakuriza baana mudiini kyagambye nti omulembe oguddako gulina okutaasibwa kukabi kano nga bakuzibwa mukutya katonda.

Bya Tenywa Ismail Edirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *