Mumanye obukulu bw’emizikiti- Sheik Salim Bbosa
.
Amyuuka Director wa Sharia Kukitebe ky’obusiramu ekya Uganda Muslim Spreme Council Sheik Salim Bbosa era omu kuba sheik abagundiivu mu ggwanga asabye abasiramu okumanya enyo obukulu bw’emizikiti mubusiramu nga bayita mukujizimba n’okujirabirira.
Sheik Salim Bbosa bwabadde akulembeddemu okusaaza Jumah Ku Masjid Jamia Kyengera Mu town council ya Kyengera mu district ya Wakiso abuuliridde abasiramu okwelekereza okuwaayo wonna awazimbibwa omuzikiti kubanga Allah yalina empeera yoyo azimbye omuzikiti. Asabye abazadde okwagazisa abana emizikiti nga babatwala okujisaaliramu n’okumanya obukulu bwagyo. Awadde ekyokulabirako ky’omusajja omu mu kyengera ayoola kasasiro eyazimba omuzikiti e Nabbingo nagamba nti kyakulabirako kinene eri abalala nti buli omu alina kyasobola okola mukuyimirizawo omuzikiti.
Sheik Salim akangudde kuddobozi eri abefudde bakiwagi mukutundu n’okusanyawo emizikiti naddala aba family abefuulira abasiramu oluvanyuma lw’abakadde babwe okuvawo abaleka bawaddeyo ebifo okulakulanya obusiramu ate ab’enganda nebagala okubitunda.
Mungeri yemu sheik Bbosa nga Imam omu kubakulira Masjid Jamia Kyengera akalatidde abazadde mubiseera bino eby’oluwummula okukuuma abana obutiribiri nga bababuulira kumize emikyaamu ejikyaase munsi ne kumitimbagano wamu n’okwogera n’abana kubuzibu bwebayitamu n’okubamanyisa omutonzi wabwe.
Masjid Jamia Kyengera elimukuzimbibwa mukaseera Kano era Salam Charity ne Salam Tv bakulembeddemu omulimu gw’okuyambako okuzimba masjid eno nga bayita mubasiramu era ensimbi obukadde 4,400,000/= ez’obuliwo zezisondeddwa okuyambako kumulimu gwa masjid eno eyakalina ezimbibwa. Sheik Salim Bbosa asiimye Salam charity olw’okubakwasizako.
Bya Tenywa Ismail