Mutegeke okulonda kwa Lc1 mubwangu wemutakikola twekalakaasa-Babaka
12th July 2023.
Ab’oludda oluwabula gavumenti bawadde gavumenti salesale wa mwezi gumu okubanga bategese okuloonda kwabakulembeze kumutendera gw’ebyaalo oluvanyuma lwekisanja kyaabwe okugwaako kyebagamba nti singa tekikolebwa bakukolawo ekitiisa.
Bano nga basinziira mulukungaana lwabannamawulire lwebatuuziza ku palamenti nga bakulembeddwamu minister owekisikirize ow’ensonga za gavumenti ezebitundu era nga yemubaka omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima bagamba kyenyamiza okubanga kusaawa eno gavumenti ekaaba ensimbi ezokutegeka okulonda kuno atenga kino tekibaguddeko bugwi.
Gyebuvudeko Ssabaminisita w’egwanga Robinah Nabanjja Musafili yategeeza palamenti nga gavumenti bweyetaaga ensimbi obuwumbi 59 okusobola okutegeka okulonda kuno ate zebatalina kusaawa eno.
Kati Omubaka ono Naluyima agamba eteeka erirungamya enkola yemirimu mu gavumenti ezebitunddu lirambika buli luvanyuma lwa myaka etaano okukyuusa obukulembeze bwaba kulembezze bokubyaalo okuli ba ssentebbe nobukiiko kumitendera gyawaansi naye kyenyamiza okubanga Kati emyaka gyino gyiweddeko nayenga gavumenti yefudde kyesirikidde.
Hon Brenda Nabukenya omubaka Omukyala owa district ye Luwero agamba singa omwezi gumu gugwaako nga gavumenti tetegese kulonda kuno, bakuvaayo begatte kubanayuganda nga abakulembezze bekalakaase mu mirembe nga akabonero akokulaga obutali bumativu ku nsonga eno.
Ye omubaka wa Mawogola South Gorret Namuga n’omubaka omukyala owa Kalangala district Hellen Nakimuli bagamba kyenyamiza okubanga gavumenti esasanya ensimbi mubitundu ebitagasa era singa ensonga eno tekolebweeko obuwereza obusooka eri abantu bwandizingama.
Bya Namagembe Joweria