Obubaka bw’amyuuka sipiika wa Palamenti Tayebwa eri Ssabasajja Kabaka ku matikkira.
Ayi Ssabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, Nnamunswa, Omuteregga, Maaso Moogi, Magulu Nnyondo, Ssebuufu Bwa Ngo, Omuteregga, Chuucu, Lukoma Nnantawetwa, Nnantalinnya mu Kateebe, Ssaabalongo, Sserwatika lwa ttaka, Empologoma ya Buganda.
Nze Musajja wo Thomas Tayebwa, Okuva e’Ruhinda North, Mitooma District. N’essanyu eringi ennyo, ntwala omukisa guno, wamu ne famire yange, okukuyozaayoza, wamu n’oBuganda bwonna okutuuka ku matikkira ag’emyaka 30 nga oli Ku Nnamulondo olamula . Yogaayoga ayi Beene.
Ayi Ssaabasajja, emyaka 30 nga olamula obuganda, abantu baffe, awatali kwawulayawula mu mawanga wadde eddiini, bafunyemu ebirungi bingi nnyo. Okulyanyisa obwavu, okulwanyisa endwadde (Nnalubiri ne Mukenenya), n’okuleeta enkulaakulana mu Buganda ne Uganda nga obwakabaka bukolaganira wamu ne gavumenti eya wakati. Tusaba mukama Katonda ayongere okukuuma akuwe n’eddembe.
wangaala Maasomoogi, Empologama ya Buganda.
Bya Namagembe Joweria