Politics

Obulwadde bw’enkima”Monkey Pox” butuuse mu ggwanga.

Abantu babiri be bakakasiddwa okukwatibwa obulwadde obuva ku Nkima obwa ‘ Monkey Pox’ okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu disitulikiti ye Kasese.

Bino bitegeezeddwa minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng bwabadde awa parliament alipoota ku bulwadde buno akawungeezi kwolwa leero agambye nti mukunoonyereza okwakolebwa aba Uganda Virus Research Institute nga o’mwezi gw’omusanvu 24 July , 2024 ku balwadde 6 mu ddwaliro lya Bwera e Kasese, kwalaze nti abakazi okuli omusuubuzi ow’emyaka 37 n’owemyaka 22 omutuuze we Bunywisa II mu gombolola ye Bwera baazuulibwa n’obulwadde bwa Monkey Pox.

Obulwadde buno, minisita Aceng ategeezezza nti busibuka ku Nkima saako ne kaamugye nga mu budde buno businga muggwanga lya DRC wadde nga n’amawanga amalala nga Kenya, Brundi, ne Rwanda gabulina

Omuntu abulina afuna agatulututu ku kitundu kyona eky’omubiri , alumwa omutwe, afuna omusujja ogwa maanyi n’okuwulira obunafu omubiri gwonna ng’a businga kukwata singa oba osemberedde oba wegasse n’omuntu abulina era nga bwabulabe nnyo eri omwana ali wansi w’emyaka 15 n’abakyala abazito.

Ekitadde eggwanga mu katyabaga naddala disitulikiti 17 eziriraanye eggwanga lya DRC , disitulikiti 5 ezisinga okubudamya abantu saako ne Kampala olw’omujuzo gw’abantu

Omwaka guno abantu 17,000 be bazuulibwa n’ekirwadde kino nga 500 ku bo okuva mu disitulikiti 13 mu Afrika baafa okusinziira ku kitongole ekinoonyereza ku ndwadde ekya Africa Centres For Disease Control and Prevention nga abalwadde abasoba mu 14,000 basangibwa mu DRC .

Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ki World Health Organization kekyalangiridde ekirwadde kino mu butongole minisita Aceng yagambye nti beetegese okukyenganga era nga labalatole zateereddwawo n’ eddagala erinagemwa abantu lya funiddwa dda.

Achenge anyonyodde nti eddagala okuli ekika kya MBA-BN eri abakulu ng’olina kufuna doozi bbiri n’eddala erya LC16 okuva e Japan nga lyo likubibwa abakulu n’abato.

Akubirizza Bannayuganda okwerinda ekirwadde kino okukuba ku nnamba 0800-100-066 singa babeerako gwe beekengedde okuba nabwo, obutagabana ngoye naddala n’oyo ateeberezebwa okubeera nabwo kubanga bumalamu ennaku 15 ate ku bisenge oba emmeeza wakati w’essaawa 24 ne 47.

Ababaka abenjawulo babuusizza embeera ya Gavumenti ey’okutangira embeera eno ng’omubaka wa Munisipaali y’e Mukono Mp Betty Nabooze abuuzizza lwaki Government tezimba bbugwe ku nsalo ya DRC gy’agamba nti ssennyiga omukambwe asinga gyava, ye Omubaka wa Munisipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda asomoozezza minisita we w’ebyobulamu annyonnyole lwaki eyo government tesooka kukebera bantu bayingira eggwanga nga nakozesa ensalo zaayo ,era nga wano omubaka wa Bukomansimbi North christine Ndiwalana alaze obweraliikirivu olw’omuwendo gw’eddagala erigema okweyongera ku katale n’okutiisa obulamu bw’abagukozesa

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *