OKUSOOMOZEBWA MUKULWANYISA MUKENENYA
Mukawefube ow’okulaba nga akawuka kamukenenya kaggwawo muggwanga abakugu mukunonyereza bavuddeyo nebategeza nga bwewakyaliwo okusoomozebwa okwamanyi eri abantu okufuna ebikozesebwa mukwetangira akawuka kano wadde nga engeri nyinji zireteddwa okulaba ng’abantu bazettanira .
Okusinziira kumulwanirizi w’eddembe ly’abantu abawangaala n’akawuka kano akasiriimu era omunoonyereza mu mawanga agatali gamu mu Africa ng’asinziira muggwanga lya Kenya Doreen Mulamulachi agamba wakyaliwo okusoomozebwa okusinziira ku kunoonyereza okukoleddwa naddala mubifo omuli ennyo abantu abawangaala n’akawuka omuli okusoomozebwa mukufuna eddagala n’ebintu ebikozesebwa mukwetangira kw’akawuka kano.
Doreen agamba bakyetaaga okusomesebwa enyo basobole okumanya ebikwata kukawuka kamukenenya naddala engeri yokukeetangiramu saako eri abo abakalina okubakirizisa okugenda mumalwaliro okufuna eddagala .
Bino Doreen abyogedde nga asinziira mukwogerako nebannamawulire nga olukungaana luno lwetabidwamu abakugu banji mukunonyereza kubulwadde buno obwamukenenya, okuva mu mamawanga agatali gamu okuli Kenya, Malawi, Bulundi ,Rwanda namawanga amalalala ngabayita kumutimbagano.
Okusinziira ku Nelly Rwamba munsisinkano eyatuulwamu abakugu mu USA, bakizuula ng’abantu abamu tebamanyi butya bwebayinza kweyambisa bintu bikozesebwa okwetangira akawuka ka mukenenya n’obulwadde bw’ekikaba ng’abakozesa enkola ezize zivumbulibwa .
Ono ategezeza nga enkola zino bwebasaanye okweyambisa abakulembeze kubyaalo okulaba ngabazimanyisa abantu sako n’okwebuuza kubakugu mubitundu mwebawangaalira.
Michell Warren asinzidde mulukungaana luno nalaga ebimu kubyebaatukako nga bali mulukungaana mu January w’omwaka gwa 2026 e Kigali beyama okwongera okuyimusa omutindo gw’obuwereza eri abantu bona naddala mubifo eby’olukale awafunirwa obujjajabi okusobola okuyamba kulutalo lw’okumalawo mukenenya.
Ono agamba eddagala epya litunuuliddwa nnyo okulwanyisa n’okutangira kw’okusaasana kw’akawuka ka mukenenya .
Bya Bulyaba Hamidah