Okusunsula abagenda okuvuganya okubeera ababaka mumukago gwa East Africa kuwedde
Palamenti olunaku olwaleero lwefundikidde Omulimu gwokusunsula abegwanyiza okukiikirira Uganda mu Palamenti y’omukago gwamawanga amagatte ogwebuvanjuba ng’era abantu 13 bebakasunsulwa okwegatta kwabo ekumina abataano(15)abasunsuddwa olunaku olweggulo ngakati baweze 28.
Kubasunsuddwa olwaleero kwekuli nabajidde kukibiina kya NRM omukaaga abasembebwa ekibiina ng’era bano kuliko,Akol Rose Okullu, Musamali Paul,Odong goerge,Namara Denis, Kakooza James ne Mugyenyi Mary.
Bano bawerekededdwako Nampala wa NRM Hamson Denis Obua , ssentebe webyokulonda Tanga Odoi,nebanakibiina abarala.
Nampala Hamson Obua Oluvanyuma lw’okusunsula abantu be ategeezezza nti alina es
uubi bannakibiina okuwangula akalulu Kano olwomurimu amatendo gwebaakola mukisanja ekiwedde.
Mubarala abasunsuddwa kuliko Gerald Silanda owa Democratic party, Harold Kaija owa FDC, Ebil Fred owa UPC,ate abajidde kubwanamunigina kuliko Joseph Lolem ,Ategeka Moses, IJoseph Tindyebwa ne Luyinda Fred .
Gerald Silanda agamba nti akuziddwa okukolagana nabantu abekika kyonna era ngabanamuteekamu obwesigwa sibakwwjissa.
Ye Munna DP Ebil Fred agamba nti kyekiseera perliament yawano okusindika Ababaka abalina obusobozi okukola kubizibu ebiruma bannansi.