Politics

Okuziyiza akawuka ka mukenenya n’empiso.

Buli lukya eggwanga Uganda lyeyongera okufuna esuubi lyokulinnya akawuka akaleeta mukenenya kunfeete era ekirooto kya uganda ekyokumalawo akawuka akaleeta mukenenya bwegunatuukira mumwaka gwa 2030, kyandituukirira oluvannyuma lwabakugu mukunonyereza kuddagala eriziyiza okufuna akawuka kamukenenya okuva muggwanga erya America okuzuula eddagala ely’empiso eriziyiza okufuna akawuka akaleeta mukenenya.

Edaggala lino elya Lenacapavir lyazulibwa aba Gilead Sciences okuva mu ggwanga erya America era nerigezesebwa nekizuulibwa nga lisobola bulunji okuziyiza akawuka akaleeta mukenenya 100% edaggala lino lyagezesebwa mu mawanga 18 wano kulukalu lwa Africa. Munsi bbiri nga mu ggwanga lya South Africa lyagezesebwa mubitundu 25 ate mu Uganda lyagezesebwa mu bitundu 3 okuli Masaka ,Mityana saako ne Makerere ngalino baligezesa kubawala abato abali wakati w’emyaka 16 -25 ngera bano bebali mukatyabaga kokufuna akawuka akaleeta mukenenya olwemirimu jebakola omuli bannekolera gyange. Ebyava mukunonyereza kuno gyiyite ‘Purpose 1’ kwaalaga nga kwakola 100% nga tewali muwala yafuna kawuka mwabo bebagezesezaako enkola eno.

Okusinziira ku musawo omukugu era omunonyereza omukulu mukugezesebwa kuno okuva e’ Makerere University JOHN -HOPKINS MUJHU CARE LIMITED DR. Flavia Kiweewa Matovu ategezezza nga bwebaliko eddagala elyenjawulo lyebazze bakola mukugezesa omuli FTF ,FTDF ngalino lyamakerenda naye nga likola ebitundu 55 % ngakino kiva kukubeera nti abagezesebwako tebalimira ngabwebalina kulimira, kyoka lino erya Lenacapavir lyakola ebitundu 100% ekintu ekyitabangawo.

Eddagala lino erya Lenacapavir likozesebwa mumpiso nga mumwaka likubwa omuntu emirundi ebiri buli mwaka buli luvannyuma lwamyezi mukaaga 6, Dr. Flavia agamba eddagala lino lisuubirwa okutuuka mu ggwanga Uganda mumyaka nga ebiri mumaaso okuva kati oluvannyuma lwokumaliriza emisoso gyonna nga singa linabeera lituuse lijja kuyambako nga enkola endala eziriwo mukiseera kino ezeyambisibwa mukuziyiza okusaasana kwakawuka.

Wabula Dr. Flavia ategezeza nga akawuka bwekegirisiza ennyo mubaana abakyaali abato bayite abavubuka abali wakati w’emyaka 16-25 saako nabakyala okusinziira kukunonyereza okwakasembayo ,mumwaka gwa 2022 abaafuna akawuka baali 3000 ate mumwaka gwa 2023 baali 4000 mubugwanjuba bwa Africa .

Dr. Flavia okwogera bino asinzidde mukwogeerako nebannamawulire abasaka amawulire gebyobulamu abegattira mukibiina kyabwe ekya Health Journalist Network Uganda kukitebe kyekibiina kino ekisangibwa ekamwokya .

Yye Dr. Steven Asiimwe omusawo omukugu okuva mu Uganda Aids Commission asabye gavumenti eyongere enteekateeka z’okumanyisa abantu kubikwata kukawuuka kamukenenya eri abo abakalina naabo abatakalina .

Nabanoba Alice Vivian ngono y’omu kubawangaala nakawuka asabye abantu bonna abawangaala nakawuka obutekubagiza n’obutafa kubigambo byebaboogerako wabula abakubirizza okunywa eddagala basuubule okuwangaala obulungi.

Bya Bulyaba Hamidah

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *