Local

Omanyi omwanawo byakola nga ali yekka? , omanyi byalaba kumitimbagano?

Nga Uganda ekuza olunnaku lwomwana w’omudugavu ku ssemazinga wa Africa, abazadde basabiddwa okufaayo nyo okuwa abaana babwe obudde obubamala okulaba biki byebakola nga bali boka na biki byebalaba nga bali ku mitimbagano .

Bino byogeddwa Minista omubeezi ow’ensonga z’abaana n’abavubuka Sarah Nyirabashiti Mateke ku mukolo ogwokukuzza olunaku lw’omwana w’omuddugavu olubawo buli nga ennaku Z’omwezi 16 omwezi ogwomukaaga buli mwaka era nga guno gubadde ku Royale suites e’Bugoloobi nga ebijjaguzo by’omwaka guno bitambulidde ku mulamwa ogugamba nti okutumbula n’okukuuma eddembe ly’omwana mu mulembe gwa digito.(promoting, protecting children’s right in digital era).

minister Sarah Nyirabashiti Mateke agamba nti abazadde besuliddeyo gwanagamba kubutanonyereza kubiki abaana babwe byebalaba ku tv nebyebakola ku masimu ekiviirideko abaana okwononeka.

Wano wasabidde amakampuni saako ne TV okussa ekomo ku biki abaana byebalaba saako nokukendeeza ku kwebyo ebikyamu ebitekebwa ku mitimbagano ( content) omubbi ku mitimbagano.

ye Betty Ethel Naluyima ng’ono mubaka omukyala owe wakiso naye tayawukanyeko na minister akubiriza abazadde okuffayo okulabirira abaana babwe obutenyigira mubikolwa ebikyamu kubanga tebikomabukomi kumwana we wabula bisasaanira ne mubaana abalala.

Tabitha Suubi ngono yakulira ekitongole kyobwanakyewa ekirwanyisa ebikolwa ebikyamu eri abaana ekya Raising Voices ategezeza nti omwana w’omuddugavu bwatandika okukozesa omutimbagano , abazadde basanye okumanya ebibi ebiva mu baana okukozesa emitimbagano wadde nga omutimbagano gulina kyegukozze okuyamba abaana nga balina byebafuna naddala ku nsonga ezokusoma ,kyokka abaana abasinga bava kubyebalina okukola nebadda kubilara ebitali byamaka gyabwe.

Ono asabye abazadde okuwayo obudde okumanya biki abaana byalaba ku mitimbagano kuba bangi kubaana batya okulopa Eri abazadde olwokuba tebafuddeyo kubawa budde.

Wano minista omubeezi ow’ensonga zabaana nabavubuka Sarah Nyirabashiti Mateke watongoleza enteekakateeka ya gavumenti okulaba nga abaana eddembe lyabwe lirwanirirwa eryatekebwawo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *