Politics

Omubaka Mathias Mpuuga ayagala aba NUP bamwetondere.

Eyaliko akulira oludda oluvuganya gavumenti era nga ye mubaka wa Nyendo -Mukungwe, Matthias Mpuuga ayagala ekibiina kye ekya NUP kimwetondere olwokumwononera elinnya bwekyamuyita omulyake kyagambye nti baali bamulanga bwemage era nti bwekinalemererwa wakubako kyazaako.

Mpuuga asinzidde mu nsisinkano ne bannamawulire ku palamenti nga ayogera ku nsala ya kkooti enkulu eyasazeewo enkya ya leero nti akasiimo akaaweebwa bakomisona kabawebwa mu mateeka.

Komisona Mathias Mpuuga asekeredde ababadde bamulima empindi ku mabega wamu nebakomisona abalala abayise bakibogwe era nawa abalonzi baabwe amagezi bongere okubakubamu ttooki ,era ono asambazze ebibadde byogerwa nti ye ne bane abana bezibika ensimbi y’omuwi w’omusolo nagamba nti tebayinza kukikola kubanga balumirirwa eggwanga lyabwe.

Owekitiibwa Mpuuga ayambalidde ababaka ababadde bagufudde omugano okumulirangako ekyemisana okumala ebbanga ddene wabula nga ekyennyamiza bamulanga bwemage neyennyamira nti ababaka bano kyebakoze kiraga lwatu nti palamenti eno erimu ebibogwe.

Ono bwabuuziddwa lwaki erinnya lye lyeribadde lisinga okulabikira mukavuyo ako okusinga kugabanne ,agambye nti olwokuba nti elinnya lye yalikolerera ebanga dene kosa nekitiibwa ekyamuwebwa ssabasajja magulu nyondo ekya “owekitiibwa “kyogeza abantu banji ebisongovu naye nga talina kyakubakolera nga siyeyabagaana obutakiikirira buvubuka bwabwe, ono atuuse nokubalangira nti ye bweyali akolerera obwakabaka nga bbo bali mubivvulu,nga yensonga lwaki abanji bagala okulirinyirira olwefutwa nobutayagaliza byebalina byebibalumya omutwe.

Enkya yaleero omulamuzi Douglas Singiza owa kkooti enkulu bwatyo takkaanyizza nakyamusabibwa munnayuganda Bwete Daniel nga ono yaddukira mu kkooti eno nagisaba erangirire nti olukiiko olufuga palamenti nga 6/5/2022 kyerwasalawo okuwa bakomisona akasiimo lwakikola mu bukyamu kkooti kyegaanye nga egamba nti minisitule yebyensimbi ensonga yagyanjula mu palamenti era negiyisa.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *