Omubaka omukyala owa Kisoro yegasse ku NRM
Omubaka omukyala owa District ya kisoro Grace Ngabirano Akifeesa eyakalondebwa asse omukago nekibiina kya NRM okkolagana mubulikimu wadde nga yajja mu palamenti kubwanamunigina.
Olwaleero mulukungaana lwa bannamawulire olwetabiddwamu Nampala wa gavumenti Hamson Obua,amyuka omuwandiisi w’ekibiina kya NRM Rosemary Namayanja nabamu kubabaka ba palamenti okuva mu mu Kisoro, omubaka Grace Ngabirano Akifeeza ategezezza nti musanyufu okulaba nti agenda kkolagana n’ekibiina kya NRM era nga ajakukozesa omukisa guno okusakira abantu b’eKisoro ebirungi.
Okusinziira ku Nampala wa gavumenti endagaano eno ewa omubaka ono obuyinza okwetaba mumikolo gyekibiina gyona era nga asobolera ddala okuteesa wadde nga talina kaadi ya NRM.
Ate ye amyuka omuwandiisi wa NRM Rosemary Namayanja ategezezza nti omubaka Grace Ngabirano tebamuwadde kaadi ya kibiina wabula bagenda kunyweza enkolagana yabwe era teberabidde munabwe eyabakwatira bendera wadde nga teyayitamu.
kinajukirwa nti oluvannyuma lw’eyali omubaka omukyala owa Kisoro Sarah Mateke okuva mubulamu bwensi abantu bewabwe bamusikizza omubaka Grace Ngabirano Akifeeza wabula nga ono yaja kubwanamunigina nga talina kibiina nawangula banne beyali nabo munsiike nobululu 50,459.
Bya Namagembe Joweria