Politics

Omubaka Ssewungu mwennyamivu, abasomesa ba pulayimale bakendedde mu ggwanga.

Omubaka wa Kalungu West Hon. Joseph Gonzaga Ssewungu atadde gavumenti ku nninga eveeyo ennyonnyole ensonga lwaaki abasomesa bagenda mangu muluwummula (retirement) nga tewali bagenda kubaddira mu bigere ekintu ekikosa ebiseera bya bayizi ebyomumaaso.

Ssewungu agamba nti yategeeza dda palamenti eno nti amatendekero agabangula abasomesa ba primary (teacher training colleges) gaggalwaawo dda nga bano bagamba nti bagala abasomesa ba primary bayongereyo nemisomo jabwe okutuusa ku ‘degree’ nga ono yasaba nti kale amasomo gano gatwalibwe mu matendekero agawaggulu nga nokutuusa kati tegatwalibwangayo..

Ono agamba nti kyannaku nti amatendekero gano gaggalwaawo dda nga kyokka abasomesa bawummula bukyaali ate nga tewali bagenda kubaddila mu bigere.

Ono yegattidwako omubaka wa Elgon North Hon. Nangoli Gerald agambye nti emu ku nsonga lwaaki abasomesa bawummula mangu kwe kuba nga gavumenti yayisa etteeka elyokwongeza abasomesa ba science omusaala nga kyokka waliwo abasuumusibwa nebaweebwa obwokukulira amasomero olwo bano nebaddayo ku sente entono ekintu sipiika Tayebwa kyagambye nti naye buli lunaku afuna okwemulugunya okuva mu nsonda ezenjawulo.

Yye akulira oludda oluwabula gavumenti asabye gavumenti eveeyo nemitendera mweyayita okuba nga abasomesa ba ‘science’ basasulwa bulungi okusinga bannabwe aba ‘arts’ nga kyokka bonna basomesa obudde bwe bumu.

Mukwanukula ‘minister’ w’ebyenjigiriza ebyawaggulu John Chrisestom Muyingo ategezazza nga bino bwe bitagwa mu yafeesi ye nga ensonga zino balina kuzibuuza ‘minister’ wa byansimbi ssi yye owebyenjigiriza nga wano omumyuka wa ssabaminisita owokusatu Rukia Nakadama Isanga wasinzidde nasaba akadde okuddayo atuule ne banne batunule mu nsonga eno bakomewo sabiiti ejja ne alipoota.

Bya Joweria Namagembe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *