Omubaka Zaake bizeemu okumwononekera mu palamenti, Kinyamatama abimuzaalidde.
Wabaddewo ebbuggumu eryamaanyi mu Palamenti Omubaka omukyala owe Mityana Ssuubi Kinyamatama Juliet bwakaabye amaziga ng’alumiriza Omubaka wa Mityana Francis Zzaake okumuvvoola, bweyamuwemulawemula ng’agenze mu Constituency ye ku lunaku lw’amefuga.
Hon. Kinyamatama akattirizza nti okumanya ebigambo Zzake byeyamuvuma byaali bizito nnyo, tasobola nakubiyisa mu kamwa ke wabula nasaba akatambi akakwatibwa kazanyibwe, ensi yonna esobole okwerabira ku Zzaake engeri gyeyasiwuuka empisa.
Amyuuka Sipiika Thomas Tayebwa alaze okunyolwa olw’olulimi Hon. Zzaake lweyakozesa era amusaasidde Hon. Kinyamatama olw’okutulugunyizibwa mu bwongo kwayiseemu bwatyo nalagira akatambi kano kazanyibwe mu Palamenti.
Wabula Hon. Ssemujju yewunyizza engeri Palamenti gyeyinza okuwuliriza ebigambo ebizito bwebityo Hon. Kinyamatama byagamba Zaake byeyamuvuma byatasobola kuyisa mu kamwa.
Oluvanyuma amyuuka Sipiika Tayebwa ensonga agisindiise mu kakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa kanonyereze ku neyisa ya Zzaake.
Wabula Hon. Kinyamatama atabuse nga agamba nti ekya Palamenti okugaana okuzanya akatambi ka Hon. Zzaake ng’amuvuma kiraga nti bamubikkirira.
Amyuuka Sipiika alabiddwako ng’atabuddwa ku ki eky’okusalawo okutuusa lwakubye akalulu, abawagira kazanyibwe nebasinga obungi era akatambi nekalagirwa mu Palamenti.
Kyokka wakati mu katambi okuzannya, Ababaka basigadde beecwacwaana nga bawogganira waggulu ekiwalirizza Sipiika Tayebwa nayimiriza olutuula okumala eddaakiika 10, nalufulumamu.
Mu kuwummulamu kweyagambye okw’eddaakika e 10 kumpi bakulunguddeyo eddakiika amakumi 30 era olukomyewo mu lutuula, Tayebwa nategeeza nga bwebakkanyiza akatambi ka Zaake nga avuma Kinyamatama kazanyibwe, ekikoleddwa.
Oluvanyuma Tayebwa azzeemu okulagira akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa kanonyereze ku nsonga eno.
Kino bwekiwedde, emirimu gigenze mu maaso n’okutambula obukwakku wabula Minisita omubeezi ow’ensonga ez’omunda mu ggwanga Gen David Muhoozi abadde akyagenda mu maaso n’okusoma ekiwandiiko ku kukwatibwa kwa bannakibiina kya NUP ku Independence, newabalukawo olutalo olw’ababaka abakyala nga baagala okugajambula Hon. Zzaake nga bamulumiriza obutawa bakyaala kitiibwa.
Amyuuka Sipiika Tayebwa alabye embeera eggezze, kwekwongezaayo Palamenti okutuusa ku lw’okubiri lwa sabiiti ejja.
Kino kireseewo akavuyo akamaanyi mu Palamenti ng’ababaka abakyaala baagala okuyisaamu Zzaake empi wabula Babaka banne mu NUP nebamuyisaawo nga talinya okumuwonya ababaka ba NRM abakyaala ababadde batamye okukira ku njuki enkubemu enjinja, okutuuka mu Paakingi.
Wadde nga Hon Zzaake abadde ayagala okubaako kyategeeza bannamawulire, babaka banne bakanyiizza kukola gwa kumukomako nga bwebamukwata n’omumwa aleme kukola nsobi.
Bya Namagembe Joweria