Politics

Omulimu gw’okusomesa abantu okweziyiza mukenenya gukyaali munune nnyo.

Wakyaliwo obwetaavu obwokumanyisa abantu kunkozesa y’eddaggala eriziyiza abantu okufuna akawuka kamukenenya PEP .

Bino bituukidwako munsisinkano ebadde kumutimbagano n’abakugu mundwadde ezisiigibwa, mwebabadde bakubaganyiza ebirowozo nebannamawulire abasaka agebyobulamu okuva munsi ezitali zimu .

Dr. Elizabeth ne tiimu y’abakugu mu by’obulamu, bategezeza nga bwebakola ku by’obulamu bwebasanye okusomesebwa ku ndagiriro n’ebiragiro by’enkola ya PEP, era nga bano batambulide kumulamwa ogugamba nti, okulwanyisa mukenenya nga bakozesa PEP.

Bano batesezza ku nkola ez’enjawulo omuli, okukolagana n’ebibiina ebyegatiramu abantu mubitundu eby’enjawulo okutuuka ku bantu abali mu bulabe obw’amaanyi, okufuula enkola ya PEP enyangu okukozesa eri abakola ku by’obulamu awamu n’empeereza ez’enjawulo.

Abamu ku bakugu mu ndwadde ezisiigibwa abetabye mu kukubaganya ebirowoozo okwatambulide ku mutibagano, bategezeza nga bwekyetagisa okwongera okumanyisa abantu ku PEP mu bibinja ebiri mu bulabe obw’amaanyi, nebategeeza nti wasaana okutekebwawo essira kunkozesa ya PEP saako nokugondeza mubantu mukufuna edaggala lino naddala mubitundu ebyebyalo.

Bya Bulyaba Hamidah.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *