Politics

Omuyizi Hairat Nakirijja owa Ibun Hamis yetisse eza Quran mu Uganda.

Omuyizi kussomero lya Ibun Hamis Islamic Secondary School e Kigogwa Matuga mu Wakiso District owa siniya eyokusatu Hairat Nakirijja asambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lwokuwangula empaka za Quran mu Uganda ezisokedde ddala eza “The first National Quran Competitions” mukibinja kyabawala ezitegekeddwa ekitebe kyobusiramu mu Uganda ekya Uganda Muslim Supreme Council nga kijaguza okuweza emyaka 50 bukyanga kitondebwawo.

Hairat afunye obubonero 98.3 % bwasukulumye kubanne abawala babadde nabo mulwokaano okuli Naginda Rayan 95 wamu 93.6.

Hairat Nakirijja avudde mu East Buganda ‘Muslim Region’ era abavuganyiza mumpaka zino bavudde mu ‘Regions’ ez’obusiramu 10 ezikola UMSC.

Mungeri yemu nomuyizi omulenzi Ainomugisha Twalha Shafiki okuva e Kiruhura mu Ankole Kigezi Muslim region naye asinze banne babadde nabo mukibinja kyabalenzi bwafunye obubonero 96.7.

Abawanguzi bano bombiriri buli omu awereddwa emotoka kapyata ttuku ekika kya Wish. Bano okutuuka kubuwanguzi kyadiridde okuyitawo mumpaka ezidirira ezakamalirizo ezayindidde Ku UMSC olunaku olweggulo. Bano balangiriddwa amyuka Mufti wa Uganda owokubiri His Eminence Dr.Hafiz Muhamad Haruna Bukenya.

Empaka za quran zino zisaliddwa abalamuzi abenjawulo okuva mumawanga mu 7 agenjawulo omuli Tanzania,Kenya,Rwanda,South Africa,Egypt nga Uganda ekyikiriddwaHis Eminence Dr. Hafiz Muhamad Haruna Bukenya.

Pearl fm eyogeddeko ne Sheik Hamuza Kasirye amyuka ‘Principal’ wa Ibun Hamis nasiima Allah olwo buwanguzi buno Ibun Hamis bwefunye. Agambye nti Omuyizi ono Quran ajisomedde wabwe nga kwotadde nekunkola ya zoom Sheik okuva e Saudi Arabia kwabadde ayongera okubabangula mubukodyo bwokusoma Quran.

Asiimye ba director ba Ibun Hamis okuli Sheik Amir Katudde ne Sheik Siraje Kasirye olwenkola ya E-Learning eyaletebwa ku Ibun Hamis eyambye ennyo abaana okusoma kubakugu abenjawulo okwetoloola ensi yonna.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *