Omuyizi Hamis Amir Mukasa awanise Uganda mu Saudi Arabia.
Omuyizi munna Uganda Hamis Amir Mukasa ayongedde okuwanika Uganda bwakute ekyokubiri munsi yonna mu mpaka ezikwata kunzikiriza y’obusiramu (Akiidah) eziyindidde ku Uiversity y’obusiramu eya Madinah University mu ggwanga erya Saudi Arabia.
Omuyizi ono Hamis Amir Mukasa nga muyizi ku university eno e Madinah alimumwaka gwe ogusooka mumisomo gyediini nga ali ku Bachelors degree mululimi oluwarabu. Ono aweereddwa kavu wa Riyal za Saudi Arabia 2000,era ebibuuzo bino bimubuuziddwa akulira ebyenzikiriza mu Saudi Arabia Su-udi Bun Abdul Aziz Al-Khalafu, ne Sheik Twariki Bun Sa-idi Al-Kahutwani yenanyini kitabo kyebakozemu ekibuuzo ate musomesa ku ‘faculty’ ya ddaawa wamu nakulira ‘faculty’ ya Daawa Sheikh Badiru Bun Mukubili Al-Dhufayili.
Kinajukilwa nti omuyizi ono Hamis Amir Mukasa yemuyizi eyasinga mumwaka gwa 2020 mugwanga lyonna mubigezo bya Thanawi ebitegekebwa ekitongole kya Idaadi and Thanawi Examinations board Uganda. Era yomu kubayizi abatono abafuna ‘scholarship’ mu ggwanga lya Saudi Arabia ku university ya Madiinah omwaka oguwedde.
Omuyizi ono Sheik Hamis Amir Mukasa muyizi eyatandikira emisomo gye ku Lufuka Islamic primary school,bweyamaliriza nagenda ku Ibun Hamis Islamic secondary school e Kigogwa Matuga mu district ya Wakiso gyeyatuulira siniya ey’omukaaga eyeddini ney’oluzungu nayolekera e Saudi Arabia gyakyakakarabiza emisomo gya ‘degree’ mululimi oluwalabu. Ono mutabani wa sentebe w’ekitongole ky’ebigezo by’eddini Kumutendera gwa primary ekya IPLE Sheik Amir Katudde.
Pearl fm eyogeddeko namyuka ‘principal’ wa Ibun Hamis Islamic secondary school e Matuga Kigogwa omuyizi ono gyeyasomerako nga ye Sheik Hamuza Kasirye nayozayoza Hamis Amir Mukasa olwokukwatira Uganda bendera nokuwesa esomero lyabwe ekitiibwa namusaba obutaddiriza.nategeza nti kino kifananyi kirungi eri Uganda.
Bya Ismail Tenywa Kabangala