Omuyizi wa Ibun Hamis Bashiirah awanise Uganda mumpaka za Hadith e’Morocco.
Empaka za Hadith eziyitibwa Mohammed vi (six) Foundation of African Scholars in Hadith ezamasomero g’obusiramu agenjawulo mu Africa ezomulundi ogusooka,zikomekerezeddwa mubutongole mukibuga Rabat muggwanga erya Morocco.
Omuyizi omuwala eyakyikiiridde era eyakwatidde Uganda bendera ye Nayebale Bashiirah okuva kusomero lya Ibun Hamis Islamic Secondary School e Kigogwa Matuga mu district ya Wakiso, yawangulidde Uganda omudaali mumpaka zino oluvanyuma lwokukwata ekifo ekyokusatu mu Africa yonna kumutendera gwavuganyizaako.
Empaka zino zetabiddwamu amawanga ga Africa agenjawulo agawerera ddala 48 nga mubuvanjuba bwa Africa Uganda,Kenya Ne South Sudan zezoka ezetabyemu Uganda nekwata ekyokusatu munsi 48 ezetabye mumpaka zino. South Sudan yevuddemu omuyizi omuto asinze mumapaka za hadith zino. Omugatte gwabasinze bali 11 okuva mumawanga ga Africa agenjawulo. Empaka zino zetabyemu abayizi abasoba mu 120.
Omugenyi omukulu abadde kabaka wa Morocco Mohammed VI Saidi Mohammed Bin Hassan Al-Alawi wamu ne ssabawandiisi wa Mohammed VI foundation omukyala Nouzha Alaoui. Omukolo gwokugaba ebirabo eri abasinze okuva mumawanga agenjawulo gwakuberawo e Morocco mumwezi ogw’ekkumi nebiri (December )mukibuga Rabat ekya Morocco. Nayebale okukwata ekyokusatu kyava kubuwanguzi bweyatuukako mumapaka zamasomero ezetabwamu abayizi okuva musomero agenjawulo nga empaka zali ku Gadhafi National Mosque.
Pearl fm eyogeddeko namyuka Principal wa Ibun Hamis Islamic Secondary School e Kigogwa Matuga Sheik Hamuza Kasirye nalaga essanyu olwomwana wabwe Nayebaale Bashirah olwekkula lyeyatuseeko nga teyakomye kuweesa somero kitiibwa wabula ne Uganda yajitadde kuntikko kubanga ye muyizi eyakiikiridde Uganda mumapaka zino neyeyama nti Ibun Hamis bakukuuma omutindo gwensoma mubyediini n’oluzungu.
Asabye abazadde okwongera okuweerera abaana mumasomero agalimu ediini n’ebyensi kubanga kyekirbo kyokka omuzadde kyasobola okuwa omwana.
Bya Tenywa Ismail Idirisa