Politics

Omuyizi wa Ibun Hamis Nayebale Bashirah ayolekedde Morocco.

Omuyizi omuwala omu bwati okuva mu Uganda eyakyikirira eggwanga lyonna mumpaka za Hadith ezategekebwa obwakabaka bwa Morocco eziyitibwa Mohamed vi (six) Foundation of African Scholars in Hadith mutaka mukibuga Rabat eky’egwanga elyo gyagenze okufuna ebilabo bye olwokutuuka kubuwanguzi.

Nayebale Bashirah ono yakwata kifo kyakusatu mu Africa yonna mumpaka ezakamalirizo ezaliwo gyebuvuddeko nga zayindira kumutimbagano kunkola eya zoom okuva buterevu e’ Morocco.

Bashirah muyizi kusomero lya Ibun Hamis Islamic Secondary School e Kigogwa Matuga awerekeddwako maamawe Nakasumba Aisha nga bagendedde kunyonyi ya Qatar Airways.

Empaka zino zetabwamu amawanga ga Africa agenjawulo agawerera ddala 48 nga omugatte gwabayizi abatuuka kumutendera gwakamalirizo baali 120. Uganda,Kenya ne South Sudan zensi zomubuvanjuba essatu zokka ezatuuka ku final zempaka za Hadith zino.

Omugatte gwabayizi abaasinga mu Africa baali 11 era nga n’omuyizi omuto eyasinga mumpaka zino yali ava mu South Sudan. Omuyizi ono yewanika Uganda mumpaka zino bweyajiteeka ku maapu nokujiwangulira omudaali. Eyali Omugenyi omukulu kumpaka yali kabaka wa Morocco Mohammed Vi (Sidi Mohammed Bin Hassan Al-Alawi) wamu ne ssabawandiisi wa Mohammed Vi Foundation Omukyala Nouza Alaoui.

Nayebale okutuuka kubuwanguzi buno kyadirira okuwangula empaka zamasomero ezetebibwamu abayizi okuva mumasomero agenjawulo nga empaka zino zaali kumuzikiti omukulu mugwanga ogwa Kampala mukadde Gadafi National mosque.

Sheik Hamuza Kasirye amyuka Principal wa Ibun Hamis Islamic SS Matuga Kigogwa ayozayozezza Nayebale olwobuwanguzi nekifananyi ekirngi kyeyawesa Uganda.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *