Politics

Omuyizi wa Ubbayi eyasinze banne mumpaka za Quran e Kuwait ayaniriziddwa nga muzira.

Omuyizi owa siniya eyokutaano Hafiz Abdul Karim Kabiito akomyewo mu Uganda oluvanyuma lwokukola Ebyafaayo bwazeemu okuwanika Africa n’okusingira ddala Uganda mwasibuka, bwawangudde empaka z’okusoma Quran ezensi yonna ezabadde mu ggwanga erya Kuwait.

Empaka zino zamaze ebbanga lya sabiti namba nga ziyindira mukibuga kya Kuwait era nga zetabiddwamu amawanga agasoba mu 150 okuva munsi yonna. Empaka zino ziyitibwa Kuwait International Quran Award era nga zamulundi gwakkumi nasatu (13).

Omuyizi Ono Abdul Karim Kabiito okuva kusomero lya Ubbayi Islamic Secondary School and Quran Memorization Center e Bwebajja Sekiwunga mu district ye Wakiso akoze ebyafaayo bwakute ekisooka nga afunye obubonero 99/% kukikumi.

Uganda yesinze mukifo ekisoka nedirirwa Somalia,Bahrain nekwata ekyokusatu,Kuwait abategesi nebakwata ekyokuna olwo Egypt (Misiri ) nekwata ekyokutano.

Hafiz Abdul Karim Kabiito okugenda mumapaka zino e Kuwait yasooka kusunsulibwa mubalala okuva kukitebe eky’obusiramu ekya Uganda Muslim Supreme Council oluvanyuma lwokunywa mubanne akendo. Ono Ayaniriziddwa bazadde be wamu nabasomesa be aba Ubbayi.

Guno sigwemulundi Kabiito Abdul Karim okuwangulira Uganda engule, nomwaka guno Mu Ramadhan yawangulira Uganda engule mumpaka zokusoma Quran ezayindira mu Tanzania wano kumulirano. Gyebuvudeko era Kabiito ono yawangulira Uganda omudaali mumapaka za Quran ezali e Dubai.

Twogeddeko ne Hafiz Abdul Karim Kabiito nga yakatuuka kukisaawe Entebbe neyabaza omutonzi olwokumutuusa kubuwanguzi buno,nasiima abasomesa nebazadde be abamubereddewo ebbanga lyonna. Asubiza nti siwakuddirira wakisigala nga avuganya mumpaka ezenjawulo. Asabye abakutte Quran okubeera ekyokurabirako mubuli kimu.

Mungeri yemu nakulira amasomero ga Ubbayi Islamic schools e Bombo ne Bwebajja era omumyuka wa Mufuti wa Uganda owokubiri His eminence Dr. Hafiz Muhamad Haruna Bukenya nayozayoza Kabiito olwobuwanguzi bwatusizaako Africa ne Uganda. Agambye nti kumasomero ga Ubbayi bakulembeza mutindo. Asiimye Uganda Muslim Supreme Council olwokusunsula Kabiito okwetaba mumpaka zino ezabadde e Kuwait.

Bya Ismail Tenywa Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *