Politics

One Ummah Uganda egabye zakah eri abantu abasoba mu 400.

Ekitongole ky’obwanakyewa ekya One Ummah Uganda wamu nebanywanyi babwe aba One Ummah UK bagabidde abantu abawerera ddala 429 Zakah okubayambako okukyusa obulamu babwe mubyenfuna nga bongera mu ‘Business’ zabwe wamu n’okutondawo emirimu eri abo abatagirina.

Abantu abaweereddwa zakah eno bavudde mu ‘Districts’ 10 ezenjawulo mu Uganda omuli Yumbe,Kanungu,Kazo,Bushenyi,Mbarara,abantu okuva e Busoga,mu Buganda nendala nga bano bakulembeddwamu ba District kadhi babwe.

Abafunye zakah kubaddeko abakadde,bannamwandu,abauvubuka abatalina mirimu,abasiramu abapya,bamulekwa,,abaliko obulemu,abalwadde nabalala abenjawulo. Emikolo gino gibadde kukitebe ekikulu ekya UMSC ku Gadafi National mosque.

Omugenyi omukulu abadde amyuka mufuti wa Uganda owokubiri HE Dr. Hafiz Muhamad Haruna Bukenya nga asiimye nnyo ekitongole kino ekya One Ummah olwomulimu gwekikola okuyambako abetaavu nasaba nebitongole byobwanakyewa okuyamba kubantu abali mubwetaavu baleme kulindanga gavumenti yokka. Agambye nti embeera eri mubantu sinnungi nga buli omu yetaaga okuyamba munne.

‘Country Director’ wa One Ummah Uganda Hajjat Shania Kigozi asabye abafunye zakah eno okujikozesa obulungi nakalatira abaami obutajiwasamu bakyala balala wabula basooke batereze ebyenfuna byabwe. Agambye nti ye zakah eguddewo omwaka kubanga bakimanyi bulungi nti abantu betavu olwembeera y’ebyenfuna eri mu ggwanga.

Hajjat Shania asiimye gavumenti ya Uganda wamu ne Uganda Muslim supreme council olwokubawa omukisa okuyamba kubannayuganda.

District Kadhi wa Wakiso Mawulana Sheik Elias Kigozi era omu kubaddukanya One Ummah Uganda,agambye nti Zakah eno eganyula abantu bonna okuva mu Uganda naddala eri abo abatekamu okusaba kwabwe nga betaaga okukwasizaako

Ono agambye nti ekitongole kino kiriwo kuzaamu bantu suubi. Agambye nti eno yemu kungeri gyebayambako Gavumenti okuyamba abantu okwejja mubwaavu era asabye abagagga okukwasizaako ennyo abetaavu okusobola okumalawo embera yebikolwa ebikyaamu.

Bya Tenywa Ismail Idirisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *