Local

Palamenti ekkiriza ekisanja kya ba Ssentebe ba LC I, kyongezebweyo okumala emyeezi mukaaga.

27/7/2023

Palamenti ekkiriza ekisanja kya ba Ssentebe ba LC I,ne II n’obukiiko bw’abakyaala ku byaalo okwetoloola eggwanga lyonna kyongezebweyo okumala emyeezi mukaaga, okutuusa nga Govt efunye ensimbi ez’okutegeka okulonda.

Kino kizze Palamenti bweyisizza amateeka agagenda okukkiriza gavumenti okwongezaayo ekisanja ky’obukulembeze bwokubyalo nga kino kyakusobozesa ba ssentebe abaliko okugira nga bakola emirimu gyabwe nga gavumenti bwekyategeka okulonda kwobukulembeze buno.

Minisita wa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi yayanjulidde palamenti amateeka gano agagenda okusobozesa obukiiko bwa LC esooka neyookubiri okugira nga bukola emirimu gyabwo okumala ennaku 180.

Wabula sipiika Among asanze akaseera akazibu okumatiza aboludda oluwabula gavumenti ababadde tebakkaanya na nteekateeka eno nga akulira oludda oluwabula gavumenti Mathias Mpuuga agamba nti tewali mbeera yetaagisa kwongezebwayo kwa kisanja kyabano nga amateeka gagamba nti kyongezebwayo nga waliwo embeera eyobwerinde nga olutalo oba okubalukawo kwekirwadde kyokka nga tewali nekimu ku bino.

Kino kiwalirizza sipiika wa palamenti Annet Anita Among okulagira minisita Magyezi aveeyo nennambika eraga engeri gyebagenda okutegekamu okulonda kuno, era minisita nakakasa nti wakufulumya ennambika yokulonda kuno.

Newankubadde kino kiyisiddwa ababaka naddala okuva ku ludda oluwabula gavumenti basigadde ssibamativu nga owa Nakaseke south Luttamaguzi ssrmakula, Joseph ssewungu owe kalungu west, Yusuf Nsibambi owe Mawokota south.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *