Palamenti erabudde gavumenti kukyokuyisa obubi abokozi nabakuuma ddembe
09/05/223
Gavumenti n’abakungu baayo bawabuddwa okwongera okutunuulira embeera za bakozi omuli n’abakuuma ddembe ngemu ku ngeri y’okutangira ebikolwa ebyokwekyawa evaako abamu nokutuusa obulabe ku balala.
Bino byogeddwa Palamenti bw’ebadde esiima emirimu gy’abadde Minister omubeezi owe kikula Kya bantu n’obukozi Okello Charles Engola eyava mu bulamu bwensi eno Sabiiti ewedde ngono yattibwa omukuumi we bweyali yeteekateeka okugenda ku mirimu.
Ekiteeso eky’okusiima omugenzi Engola
kireeteddwa Ssabaminisita Robinah Nabbanja nekiwagirwa AKulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga.
Ssabaminisita Nabbanja ategeezezza nga omugenzi bweyalafuubanira ennyo okuzza emirembe mu kitundu ky’omambuka n’okulaba nti abantu abaali mu nkambi bazivaamu ne bakkalira mu gaali amaka gaabwe.
Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Mathias mpuuga yewunyizza olwokuba nti palamenti yayisa ssente nnyingi ezokulamba emmundu nokugula zi camera naye kyewuunyisa okuba nti ettemu likyagenda mu maaso.
Mpuuga era asabye gavumenti enonyereze ku kyokuba nti omukuumi Ssabiiti baali bamwemulugunyaako okuba nti yali wampisa mbi mu biseera weyabeerera ku bakuumi ba capt Mike Mukula
kyokka bweyagobwa eno ate nasindikibwa okukuuma omugenzi.
Bbo ababaka ba Palamenti okuli owa Nakaseke Central Allan Mayanja Ssebunya agamba ministry ye nsonga z’omunda mu ggwanga erina ebibuuzo bingi okuva eri bannansi ku ttemu erisusse,nga ne ssente ezifulumizibwa entakera okugula camera z’okunguudo baagala zirondoolebwe kubanga ezisinga kigumaaza.
Minisita we kikula kya bantu na bakozi Betty Amongi omugenzi gyabadde akolera amwogeddeko nga abadde alafuubana okulaba nti etteeka ku kutwala abakozi ebweru limalirizibwa.
Bya Namagembe Joeria