Politics

Palamenti eragidde aba Takisi balonde obukulembeze okumalawo enkayana

Akakiiko ka palamenti akalondoolala ensonga z’obwa pulezidenti kalagidde minisitule ye by’entambula okutegeka akalulu kobukulembeze bwa takisi okumalawo entalo eziri mu bibiina eby’enjawulo ebibagatta.

Naome Kabasharira ( mukazi/ Rushenyi county) ssentebe wa kakiiko kano okuwa ekiragiro kino kiddiridde okukizuula nti ekibiina kya UTRADA( Uganda Transport Development Agency) ne UTEGGA birina ba ssentebe ba njawulo nga abamu ne kibiina kya UTOF ekibatwala tekibamanyi mu butongole.

Mu nsisinkano akakiiko gyekabaddemu n’abo abegattira mu kya UTRADA, UTTEGA, (Uganda Tax Transport Execuitive Governing Authority) UTODA( Uganda Taxi Operators and Drivers Association), COTODA ,UTOF(Federation of Uganda Tax Operators) , abakulembeze ba KCCA, ne minisitule ya gavumenti z’ebitundu.

Okunoonyereza ku kitabudde ba ddereeva bano oluvanyuma lw’ekiwayi ekimu mu UTRADA okwekubira enduulu eri sipiika wa palamenti Anita Annet Among ku ngeri abakulembeze abamu gye bababigika omusolo oguyitiridde, emisanvu egyiteekebwawo mu nguudo nga n’abantu abagyibeerako tebategeerekeka ssaako n’okubabonyabonya nga olutatadde.

Akakliiko kazudde nti ekibiina kya UTRADA kyeyawuddemu ebiwayi , oludda oluwagira Mustafa Mayambala kabuzze katya lugwangane mu malaka n’olwa Rashid Ruman mu maaso ga babaka nga entabwe evudde ku kuwakanira kifo kya bwa ssentebe ng’era kye kimu ekirabikidde ne mu UTTEGA Hussein Kazibwe ne Brian J Sebigimba bwe bakayanidde entebe.

Ruman mu kwogerako eri akakiiko okuyita mu mukkesi w’ekibiina ow’ekyama Milton Rammy Muguya okuva mu Taifa security Uganda limited yategeezeza nti okuggya mu buyinza, banne bwe begattira mu kibiina kya UTRADA bebamulonda okubeera ssentebe wa kaseera oluvanyuma lw’ekisanja kya Mayambala okuggwako emyaka ebiri emabega.

Wabula ssetebe wa UTOF Rashid Ssekindi akawangamudde bwategeezeza ababaka nti newankubadde Ruman mu budde buno yeyita ssentebe, nga akakiiko akagatta ebibiina bino byonna tebamumanyi era Mayambala gwe bamanyi okutuusa nga bazzemu okulonda.

Mayambala yewunyizza nnyo Ruman okupangisa Muguya okubogerera era nategeeza nti yomu kubavuddeko obutabanguko mu mulimu gwabwe.

Baddereeva basabye ebitongole ebibavunaanyizibwako okubataasa ku misolo egyiyitiridde gyebasasula

Bannyonnyodde nti si kyabwenkanya okuba nga basasula ogw’emitwalo 720000, ne 840000 egyateekebwawo mu mateeka ate ne baggyibwako ne 3500 mu buli paaka z’o bwannanyini gyebabeera batutte abasaabaze.

Yinginiya David Luyimbazi akiikiridde nankulu wa KCCA Dorothy Kisaka asambazze ebigambibwa nti akolagana nekiwayi kya Mayambala okubaggyako omusolo era nategeeza nti abakikola baali bakozi ba KCCA era nga bakikola mu bukyamu.

Raphael Magyezi minisita wa gavumenti z’ebitundu agumizza ba ddereeva bano nga entalo zaabwe bwezigenda okugonjoolwa kubanga minisitule etegese akalulu emyezi essatu okuva kati era nayongerako nti nga bali wamu ne minisitule ye by’etambula, eye byokwerinda ne KCCA baakubasisinkananga buli lwakutaano olusembayo mu mwezi okumalawo endoolito zebanaba nga balina.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *