Local

Palamenti yakukomyawo etteeka erikugira okukozesa ebiragalalagala

Speaker wa Palamenti Annet Anitah Among akakasiza nga Palamenti bw’egenda okukomyawo etteeka erikugira enkozesa yebiragalalagala erya Narcotic and Psychotropic Substances Control Act 2016 eryasaziddwamu kkooti etaputa ssemateeka sabiiti ewedde.

Kinajjukirwa nti kulunaku olwokutaano ssabiiti ewedde kkooti etaputa ssemateeka yasazaamu etteeka lino eryayisibwa Palamenti ey’omwenda ngayesigama kumuwendo gwababaka ogwaali gutawera nekikolwa kya Palamenti obutebuuza kubantu abaali bakwatibwako ensonga eno.

Bino okutuukawo kidiridde omubaka wa Lubaga South Aloysious Mukasa Talton Gold okutegeeza Palamenti ng’abantu abenjawulo bwebazze bajaganya n’okuddamu okukozesa ekyeere ebiragalalagala ekintu ekirabise ngakyanditeeka obulamu bwabantu mukatyabaga era bwatyo nasaba Palamenti bunambiro okutunula mu nsonga eno okusobola okutaasa eggwanga naddala abavubuka.

Speaker wa palamenti Anitah Annet Among mukwanukula ategeezezza nti wakuwa ekyanya omubaka wa palamenti akiikirira abantu be Aruu County Christopher Komakech okuleeta ebbago ely’obwananyini sabiiti ejja olwo likubaganyizibweko ebirowoozo ng’era ono ategeezezza ababaka okubeerawo mu bungi okulabanga kkooti teddamu kulisuula.

Sipiika Anita Among era yennyamidde olw’ababaka ba palamenti abatagala kutuula mu ntuula za Palamenti ezenjawulo kyagamba nti kye kiviriddeko amateeka Palamenti gebeera eyisizza okusuulibwa olwomuwendo gwababaka obutawera.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *