Poliisi etubidde n’ente ssaako n’emmotoka ebiteeberezebwa okuba ebibbe
Poliisi y’e Nateete yabadde mu bikwekweto byayo mu kiro ekyakeesezza mmande emmotoka ekika kya ipsum UAH 846E n’ebayitako okumpi n’oluguudo la Sentema ku luguudo lwa Northern by-pass e Bulenga, kyokka ng’eraga nti erina ekintu ekizitowa ennyo kyeyeyeetisse.
Poliisi yagenze okwekebejja emmotoka eno nga bapakiddemu ente eyabadde eri okumpi okufa olw’ekiziyiro n’okupakirwa obubi nebagiggyamu. Byombi ente n’emmotoka nebireetebwa ku poliisi e Nateete we bikuumirwa kati.
Atwala poliisi eno, Hasan Ssekalema yagambye nti kyandiba nga nti n’emmotoka ebadde etikkiddwamu ente nayo ebbiddwa mu bitundu by’e Matugga Wakiso n’asaba abantu abantu abamanyi ku mayitire gaayo n’ente baddukire ku poliisi eno nebiboogerako bayambibwe.