Local

Poliisi yegasse kubitongole eby’obwanakyewa okulwanyisa ebikolwa eby’okutulugunya abaana.

Ebitongole eby’obwannakyewa ebyenjawulo nga bikulembeddwamu ekya raising voices, poliisi ya Uganda ,Concept for girl child , , minisitule y’ebyenjigiriza, bajjaguza olunaku olwekwefumitiriza ku butya bwebayinza okumalawo ebikolwa EBY’OKUTULUGUNYA ABAANA awaka nemumasomero, muno mwebatongoleza n’ekisinde ki “the positive displine coalition” olwokulaba nga bamalawo ebikolwa bino.

Olunaku luno lujjaguzibwa buli ng’ennaku z’omwezi 30 omwezi ogwokuna buli mwaka, okuvumirira abazadde , abasomesa n’abantu abalala nga bawa abaana ebibonerezo ebikakkali.

Kamisona Dr.Cleophus Mugenyi okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza ebisookerwako ( basic education) kumutendera ogwa pulayimale yakiikiridde minisita Dr Morichu Kaduchu obubaka bwe asabye abasomesa nabazadde okulaba nga balwanyisa ebikolwa byotulugunya abaana mu masomero.

Agamba nti ebikolwa BYOKUTULUGUNYA abayizi byeyongera buli lukya naye bano leero befumitirizza kubutya bwebalina obumalawo nokubikendeeza.

Ono Agamba abaana BASOBOLA okkuzibwa obulungi wadde nga tobayisizza mu bikolwa byakutulugunyizibwa okuli ennyo amasomero, wano alaze nti balina kubalaga byebalina okukola sikubatulugunya

Mu biseera bino ebyoluwummula asabye abazadde okutendeka abaana empisa omuli okubabulirira kiyambe okumalwo emizze gy’obufumbo obwekifuula nnenge.

Tabika Ssuubi ng’ono programmes director mu kitongole Kya Raising voice’s ono alazze obweralikirivu olw’emisango egikandaalirira mu kkooti gino agamba givaako bangi obutaloopa misango mirala nga balowooza tebayambibwa.

Masitula Nakiboneka ng’ono akola ne raising voices agamba KAWEEFUBE gwebatongozza wakuyamba okwongera okulaba ng’ebikolwa ebikossa abaana biggwawo.

Waliwo akatambi akali ku mitimbagano akatambula ng’omusomesa akuba omuyizi agamba obutambi buno buyamba okulabisa abakozi bebikolobero naye beetaaga okukuuma ekitiibwa kyabaana baleme kukalaga.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *