SC. VILLA BEBAZIZZA ABABATEKAMU SSENTE ABA LINGLONG TIRE.
Abakungu n’abazannyi saako abawagizi ba SC. Villa Jogoo Ssalongo olwaleero baanirizza pulezidenti wa Kampuni ekola emipiira gy’emotoka eya Linglong Tire Mr. Wang Feng eyagenyiwaddeko wano mu Uganda.
Kampuni ya Linglong bebateeka sente mu tiimu ya SC. Villa era nga bebanantameggwa ba liigi eya Uganda, Startimes Uganda Premier League 2024 bakungaanye nebayaniriza omukulu nga bakulembedwamu Hajj Omar Mandela pulezidenti wa Villa .
Ono bamwanjulidde ekikopo kyebawangula era nebasuubiza n’okuwangula ebirala sizoni eno.
Bya Ssali Nasif