Sikituufu nti buli munene mu ggwanga afa abeera afudde butwa-Sipiika.
Sipiika Anita Annet Among alabudde bannayuganda okukomya endowooza egamba nti buli munene mu ggwanga afa abeera yaweereddwa butwa.
Okwogera bino, kidiridde omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemuju Nganda okutegeeza spiika nga wewetagisa okuteekawo akakiiko akananoonyereza ku nsonga z’obutwa oluvanyuma lw’ebibungesebwa nti bwe bwaviirako eyaliko omubaka wa Makindye West omugenzi Hajji Hussein Kyanjo okuva mu bulamu bwensi eno.
Wabula sipiika Among agambye nti ensonga z’obutwa si wakuzinyegako mu lutuula lwaleero ,kubanga abantu bulijo bafiira buli wantu oluvanyuma lw’okulya emmere eteberezebwa okubamu obutwa.
Newankubadde akisambazze, kino tekirobedde mubaka wa Bujiri hajji Asuman Basalirwa kuwagira kiteeso kya Ssemujju oluvanyuma lwokutegeza palamenti nti abantu bangi bazze bafa mu mbeera eyo nga bawandiikibwa ne mpapula z’amawulire naye newataba kikolebwawo.
Bya Namagembe Joweria