Local

SIPIIKA AMONG ALABUDDE BANNA UGANDA ABAGYAGANYA NGA ABAKUNGU BAFUDDE

Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Anitah Annet Among alabudde bannayuganda okukomya okukyakyankyanga n’okujaguza nga omuntu afudde kyagamba nti kiba kikolwa ekikontana n’obuwangwa ngate kileka enyiike mu mitima gy’abantu.

Speaker okwogera bino abadde aggulawo olutuula lwa palamenti olwenjawulo olw’olunaku olwa leero olutegekeddwa okujjukira n’okusiima emirimu gy’eyali minisita omubeezi ow’ensonga zabakozi mu minisitule yekikula kyabantu Charles Engola ng’ono yattibwa eyali omukuumi we kuntandikwa ya sabiiti ewedde.

Among agamba bannayuganda naddala abakozesa emikutu gimugatta bantu ensangi zino bakifudde kinyumu omuntu bwafa okugyaganya kyagambye nti tekiraga bugunjufu ngate kyongera okuleeta enyiike kwabo ababeera bafiiriddwa abantu baabwe.

Mubuufu bwebumu Among akubirizza bannayuganda okwewala okukozesa emundu okugonjoola okusomozebwa kwebayitamu wabula bettanire enkola yokugonjoola ebizibu munkola eyobuntu.

Among kino ekyesigamizza kukyaliwo sabiiti ewedde, omukuumi weyabadde minister Charles Engola okumukuba amasasi agamuttirawo.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *