Politics

Sipiika Among alagidde gavumenti ekole ku nsonga z’aboludda oluvuganya

Sipiika wa palamenti Annet Anita Among alagidde gavumenti okuvaayo mbagirawo n’ekiwandiiko ekimatizza ku nsonga ezafulumya ababaka ku ludda oluwabula gavumenti basobole okudda mu palamenti bateesezze bannayuganda.

Okuyita mu nnampala wa gavumenti Denis Hamson Obua ayagala nga enaku z’omwezi 21 ekiwandiiko ekyo kisomebwe mu palamenti .

Akulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga yalagira bonna bakulembera okwamuka palamenti oluvanyuma lw’okubanja gavumenti ekiwandiiko ekimatiza ekibetondera ku nsonga ezikwata ku ddembe ly’obuntu erizze lirinyirirwa, abantu abazze babuzibwawo, abasibibwa nga tebatwalibwanga mu kooti, engeri abavubi gye bakwatibwamu ku myalo, ne ndala ezikulungudde ebbanga lya ssabiiti 3 ngatezikolebwangako nga bwe baagala.

Wabula, sipiika ate abalabudde okukakasa nti tebaweza ntuula 15 nga bali bweru wa palamenti kubanga kimenya agamu ku mateeka agabafuga nga palamenti era nga singa tebakiwulirize amateeka gakubakolako.

Abasabye okukomya okukungubagira ebweru wabula bayingire palamenti bagonjolere wamu ensonga ezibaluma.

Nga ababaka abali mu pallamenti ey’ekisanja ekye 11, abasabye bakomye okulelengana wabula bakwatagane basobole okutwala eggwanga mu maaso.

Okulabula kuno wakukoledde, nga Mpuuga yasoose kuyita lukungaana lwa baanamawulire ku ssaawa musanvu ezamalya g’ebyemisana n’abamatizza nga bwe batali betegefu kulinnya mu palamenti oluvanyuma lwa sipiika okusazaamu olukiiko lwe yabadde abasuubizza okubasisinkana okwogera ku nsonga zaabwe.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *