Sipiika Anita Among agugumbudde ebitogole ebikwasisa amateeka ku nsonga za boda boda.
Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Anita Among akubye ebituli mu bitongole bya gavumenti ebikwasissa amateeka .Ono okuvaayo bwati abadde alaga okwenyamira olw’obubenje obuva ku piki piki oba boda boda obweyongede ensanji zino .Ono mukuggulawo olutuula lwa palamenti olwa leero ategeezezza nga ebitongole bya gavumenti bwebiremereddwa okukwasissa amateeka ku ba boda boda ate nga akadde kano abantu banji abava mu bulamu obwensi eno olwa boda boda. Anita era ategeezezza nga bwebalina obuyinza kumbeera ya ba boda boda eriwo akadde kano, era nti balina obuyinza kukyo wabula badda mukuyimba embeera eno buli lukya nga tebalina kyebakoze, era bafiirwa abalonzi nga bo ababaka ba palamenti .
Ono era alambise ebintu ebitali bimu ebisaanidde okuteekebwaako essira okulaba nga obubenje obuva ku boda boda busobola okwewalibwa omuli okusaawo obukwakulizo obwamaanyi ku muntu okufuna ebiwandiiko ebimukkiriza okuvuga , ekitongole kya poliisi ekyokunguudo okukwasissa amateeka awamu n’okusaawo ebibonerezo eby’amaanyi era ebiruma eri ababa bamenye amateeka gano.
Era asabye ebyobufuzi okujibwa mu nteekateeka zaba boda boda olw’ensonga nti banansi banji abafiirwa obulamu bwabwe olw’ebikolwa nga bino, era nti aba boda boda bano basaanidde okuddamu okuwandiisibwa okulaba nga bamanyibwa era nti kino kijja kuyambako mu kukendeeza obubenje obuva ku boda boda
Among era alaze nga abantu bwebafa abanji olw’obubenje bwa boda boda buli lunnaku okusinga abafa ekirwadde kya Ebola ate nga kye kisinga okutiibwa akadde kano .N’ensonga ye tteeka ery’ekitongole kya KCCA kuba boda boda nayo ajikonyeeko era n’alagira omumyuuka wa ssabaminisita okumanyisa palamenti olunnaku olw’enkya omutendera gweririko.
Omumyuuka wa ssaabaminisita ow’okusatu Rukia Nakadama alaze nga bwagenda okumanyisa palamenti etteeka ku baboda boda werituuse, era nti n’ebiteeso bya sipiika byawadde ku nsonga za boda boda nabyo byakulowoozebwaako, bakole ekisoboka okulwanyisa ekizibu ky’obubenje ku nguudo naddala obwa boda boda era n’obukwakkulizo obwaanyi okuba nga buteekebwawo ku bantu bano.
Ababaka abenjawulo nabo boogedde ekyandikoleddwa kubaddeko ne Ibrahiim Ssemujju Nganda nga ono asabye okusooka okujjako pulezidenti Museveni olw’obutagoberera mateeka nti naba boda boda kwebakoppa era naawa ebyokulabirako ebitali bimu omuli ne palamenti okujjawo ekkomo lye myaka ku pulezidenti nebirala .
Omubaka Charles Ayume nga ye ssentebe wa kakiiko ak’eby’obulamu mu palamenti naye ayanjudde alipoota ekwata ku bubenje mu ggwanga naddala mu malwaliro ga gavunenti nga eno eraze nga eby’obulamu bwebiteekebwamu akasimbi akatono era naabaako ebirooowo byaawa okuli enkozesa yebikofiira eri abavuzi ba boda boda, obukwakulizo obwetagisa omuntu okuvuga okutekebwamu amaanyi , amateeka agokunguudo okukwasibwa ewatali kutaliza muntu yenna n’ebintu ebirala.
Minisita omubeezi owebyentambula Francis Musa Echweru ye obubenje abutadde kukuvuga endiima,wabula naasuubiza okuleeta alipoota ku nsonga eno.
Sipiika asabye gavumenti okusisimula obuuma obupima endiima oli javugirako ekiduka awamu n’obutataliza oyo yenna aba amenye amateeka agokunguudo .
Bya Namegembe Joweria