Sipiika aveeyo yetondere Obwakabaka bwa Buganda
Ababaka mu Palamenti abava mu bitundu bya Buganda nga beegatira mu kabondo ka Buganda Parliamentary Caucus baagala Speaker wa Palamenti Annet Anita Among aveeyo yetondere obwakabaka bwa Buganda ne ggwanga okutwaliza awamu ku bigambo byeyayogedde ebyayolese nga bwaliko oludda lwawagira ku kyokugatta ekitongole kye mmwanyi wansi wa minisitule ye by’obulimi.
Kati ababaka bano nga bakulembeddwamu Ssentebe wa kabondo kano era omubaka wa Butambala Muhamad Muwanga Kivumbi mu lukungaana lwa bannamawulire lwebatuuzizza ku palamenti, bategezezza nga ebigambo bino ebyayogeddwa Sipiika bwebyoleka lwaatu nti alina ebiragiro kwakolera okussa amanyi mu kugatta ekitongole kye mmwanyi ki UCDA wansi wa minisitule y’eby’obulimi ekintu eky’obulabe eri ebyenfuna bye ggwanga kuba emmwanyi kyekimu kwebyo kweryesigamye nga nolwekyo baagala aveeyo yetonde.
Ababaka bano era bagamba baagala ebbago lino eriwa ekyaanya okugatta ekitongole kye mmwanyi wansi wa minisitule ye by’obulimi lisuulibwe mu kasero kubanga tebakyayinza kukkiririza mu Sipiika wa Palamenti kukulemberamu kuteesa ku bbago lino nga bamuteebereza okubaako oludda kwagwa nga bweyawulikise mu katambi.
Omumyuka wa Ssentebbe wa kabondo kano,era omubaka wa Buikwe South Dr. Lulume Bayiga awaliriziddwa n’okusoma agamu ku mannya ga babaka abava mu bitundu ebiri ebweru wa Buganda abaavuddeyo nebalonda ekitongole kye mmwanyi kisigalewo ekiraga nti ensonga eno ssi ya Buganda yokka wabula ggwanga lyonna era balayidde okufiira ku mmwanyi.
Bya Namagembe Joweria