Ssemujju Nganda bavuddewo bubi ne ssabawolereza wa gavumenti.
Omubaka wa munisipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda awanyisiganyizza ebisongoovu ne ssaabawolereza wa gavumenti Kiryoowa Kiwanuka nga entabwe eva kukwatibwa kwe mu bukambwe poliisi ya Uganda kweyakozeseza bwe yabadde atwala okwemulugunya kwe eri kooti ya Kenya ensukkulumu wano mu Uganda olunaku olweggulo, olwa bannaabwe aba FDC abaawambibwa okuva muggwanga lya Kenya .
Ssemujju Nganda ategezezza amyuka sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa nti ye ne mubaka munne Thaddeus Kamara owa Kabale Municipality n’abakulembeze b’ekibiina kya FDC abalala 12 bakwatiddwa mu bukambwe, ne batwalibwa mu kkooti ne baggulwako emisango gy’okutaataaganya abantu kwossa okweyisa nga ekitagasa ekintu ekitali kya bwenkanya.
Ono agamba nti sabiiti ewedde yasaba ssaabawolereza wa gavumenti annyonnyole lwaki baakwata abawagizi ba FDC abaali bagenze mu misomo gy’obukulembeze e Kenya era ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka n’ategeeza nti talina kyakuddamu nga yensonga lwaaki yye nebanne abalala basazeewo okukola.kye bakoze nga banoonya okufuna okunnyonnyolwa kyokka nebakwatibwa.
Mu kwanukula ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ategeezezza palamenti nti n’omubaka wa palamenti asobola okutaataaganya abantu oba okweyisa nga ekitagasa okusinziira ku mateeka.
Wabula okunnyonnyola kwe kunyiiziza Ssemujju olwo ne batandika okuwanyisiganya ebusoogovu
Wano Ssemujju ayambalidde ssaabawolereza wa gavumenti nga amusaba okukomya okubalaatira ensonga y’okukwata ababaka mungeri ey’obukambwe namusaba asooke ateke ebaali enkolagana gyebalina eyomupiira aveeyo abuulire eggwanga lwaki bakwata abantu mu ngeri emenya amateeka.
Kiryowa mukwanukula ssemujju yamutegeezezza nti mu mbeera eno tekyetaagisa Mubaka mulamba owekitiibwa akiikirira Munisipaali namba kuleeta byamupiira mu parliament mu nsonga ezikwata ku kutaataaganya abantu kyagambye nti abanga akudalira banansi.
Bya Namagembe Joweria