Tropical Bank ewadde essomero lya Bilal Islamic Institute Kakiri ‘Cement’.
Oluvanyuma lwekimu kubisulo byabana abawala kusomero lya Bilal Islamic Insititute Kakiri mu district ya Wakiso okwata omuliro mumwezi ogw’ekkumi omwaka guno ogutaategerekeka kwegwaava, Bank yebyobusuubuzi eya Tropical Bank Uganda Ltd edduukiridde essomero lino n’ensawo za cement 100 beddu, okuyambako mukuzzawo ekizimbe kino.
Tropical Bank eno nga ekyagenda mumaaso nebikujjuko byayo ebyemyaka 50 egyobuweereza mubya ‘Bank’.
Seminti ono akwasiddwa amyuka ‘Principal’ wa Bilal Islamic Insititute Kakiri Hajji Karunda Musa nga amukwasiddwa Relationship Manager wa tropical bank Kasirye Muhammad Muyigwa nga awerekeddwako abakungu abalala aba Tropical omuli omukwanaganya wa tropical bank nabantu babulijjo Omulangira Ssekamanya Mahad Ne Kyazze Geoffrey.
Mukukwasibwa ‘Cement’ ono Hajji Karunda Musa Amyuka ‘principal’ wa Bilal Kakiri Hajji Karunda Musa annyonyodde kubyaliwo nga omuliro gukwata ekisulo ky’abaana abawala aba S.2 MU October w’omwaka guno nagamba nti ebintu byonna byasirikira munnabbambula w’omuliro omwali ebitabo,emifaliso,keesi z’abaana,engoye,obutanda nebilala. Asiimye Tropical Bank okudduukirira omulimu gwokuzzawo ekisulo ky’abana abawala nategeza nti bakusigala nga batambulira wamu nempeereza ya Bank eno ennungi.
‘Relationship Manager’ wa Tropical Bank Kasirye Muhammad Muyigwa yebaziza esomero lya Bilal Kakiri olwenkolagana ennungi gyebalina nabanjulira nenteekateeka ya Islamic Banking enetera okutandika nga abantu bonna balina okujaniriza kubanga ezze kuganyula bantu bonna. Agambye nti bakusigala nga bakuumye omutindo gwempereza yabwe omulungi eri bakasitoma babwe.
Guno sigwemulundi Tropical Bank gwesoose okudduukirira abantu n’ebitongole mumbeera bwet,i ezze ekikola mubitundu byeggwanga ebyenjawulo okuyamba okusitula embeera zabannayuganda,okuwagira ebyenjigiriza,ebyenkulakulana nebirala.
Bya Tenywa Ismail Idirisa