Uganda Woodball Federation basabye gavumenti ebongere ku sente zebawa n’okubayambako mukukulakulanya omuzanyo guno.
Mukawefube ow’okukulakulanya omuzanyo gwa Woodball mu Uganda, pulezidenti womuzanyo guno Paul Mark Kayongo asabye gavumenti yakuno nga ayita mukakiiko akalungamya ebibiina ebiddukanya emizanyo egyenjawulo mu Uganda aka National Council of sports, eyongere unsimbi ezibaweebwa okuddukanya omuzanyo buli mwaka ezirabika nga zikyaali ntono nyo okusinziira kumirimu egikolebwa.
Kayongo asabye mumbeera yemu national council of sports ebayambeko mukukulakulanya omizanyo guno nga ebavujjirira mukuzimba pulojekiti eyatuumiddwa (Multi-purpose woodball Development project) nga eno egenderedwamu okulakulanya omuzanyo guno saako nemizanyo emirala omuli omupiira, cricket, table tenis, okubaka, okudduka nemirala nga kuno kwakubeerako ekolero lyebikozesebwa mubyemizanyo gino , ebisulo byabazanyi , ebisaawe ebyenjawulo, giimu, ekkaddiyizo lyebyemizanyo nebirala.
Bino byona abyogedde munsisinkano gyebabaddemu nakulira akakiiko ka National council of sports Ambrose Tashobya abadde akyaddeko ku yafeesi zekibiina kya Uganda woodball federation e’Mengo era nga eno yetabiddwamu abakungu mukibiina kino, era wano webayanjulidde ebintu ebyenjawulo byesuubira okukola.
Ambrose Tashobya asiimye nyo engeri abekibiina kya Woodball gyekiddukanyaamu emirimu gyakyo era nabasuubiza okubakwasizaako ku nteekateka zonna eziriwo ,nokubayambako mukuggusa pulojekiti eyamwanjuliddwa. Ono mungeri yemu yasabye ekibiina kino okwongera okutendeka abakugu mumuzanyo guno omuli abalamuzi, abebyekikugu, abakulembeze nabalala.
Omuzanyo gwa woodball gwaletebwa mu Uganda Paul Mark Kayongo mumwaka ogwa 2006 era ekibiina ekigudukanya nekitandikibwawo muwaka ogwa 2008, bano baketaba mumpaka ezensi yona emirundi etaano era Uganda ebalibwa okubeera namba bbiri munsi yona mumuzanyo guno.