UNEB emalirizza okubangula abasomesa kunsoma empya.
Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ku UNEB Kikomekereza okubangula abasomesa ba secondary kunambika yensoma empya(curriculum) Kumutendera gwa senior eyokuna mutundutundu lye matuga Gombe town council mu district ye wakiso.
Okubangula abasomesa kuno kukulungudde ennaku ttano beddu era leero lwekukomekerezeddwa mubutongole wali kusomero lya Ibun Hamis Islamic secondary school e kigogwa Matuga Uneb weyalonda nekuba enkambi yokutendekeramu abasomesa kubibadde bikyalumira ku curriculum ya o level empya.
Mumwaka gwa 2020 Ministry yebyenjigiriza mugwanga yatongoza enambika yensoma empya (curriculum) eri abayizi okuva ku siniya esoka paka ku siniya eyokuna nga Kati essira esinga kuliteka kubayizi okwetanira ennyo amasomo gobwoleke (practicals) okusinga ebikwate nga Ne mukisera kino ministry yemu era Eli muntekateka essembayo okutongoza curriculum ya siniya eyomukaga.
Okusinzira ku Aimo Deborah Sarah okuva mu Uneb akulembeddemu okubangula abasomesa mutundu lye matuga agambye nti okusomozebwa kwonna
Okubadde kusinganibwa abasomesa munsoma empya bakunogede eddagala era byonna ebibadde bilumira babikwasaganyiza bulungi.
Abamu Kubasomesa abetabye mukutendekebwa kuno basiimye nnyo Uneb olwokubalowozako okwongera okubabangula okukuguka obulungi munsoma empya era kati abasinga bajikuba budinda.
Akulira Esomero lya Ibun Hamis Islamic ss Matuga Yawe Ismail asiimye Uneb okubalonda okukyaza omusomo guno ogwokutendeka abasomesa mu Matuga Gombe nagamba nti okwemulugunya kwonna okubaddewo mubasomesa ku curriculum empya kugonogeddwa eddagala.
Bya Tenywa Ismail Idirisa