Local

UNICEF bagala bongerwe ku nsimbi gavumenti zebawa buli mwaka

Abakunga okuva mu kitongole Ky’amawanga amagatte ekikwasaganya ensonga z’abaana mu ggwanga ekya United Nations Children’s fund basabye bongerwe kunsimbi kibasobozese okuddukanya emirimu gyabwe obulungi.

Abakungu bano bagamba nti bayina byebatasobode kukwasaganya okuli ebyendya, okusoma obuntu bulamu sako nebirala.

Bano babade balabiseko eri akakiiko ka budget committee akabategezeeza nti bandyagadde okubawa ensimbi ezimala naye teziriimu mu ggwanika.

Abakungungu bano okuva mu kitongole kya mawanga amagatte ekya UNICEF basabye bongerwa ensimbi mu mbalilila yo mwaka 2023,2024 kubanga bakizude nti ebyetago eri abaana mu ggwanga Uganda.

Okussinzira ku akulira ekitongole kino mu Uganda Munir safieldin, akatiriza nti enfuunda ziweze nga abaana babawa obusente butono nyo dala era abavugirira ebitongole bebade batasako okudukanya emilimu egyenjaawulo okuli okusoma , okujanjaba sako nebilala.

Bbo ababaka abatuula ku kakiiko kembalirira bategezeza ekitongole kino (UNICEF ) nti ensimbi entono zebabawa zeziba zigudde mu jamba kuba eggwanga lirina bingi byerikwasaganya.

Ababaka mungeri yemu bakinoganyiza nga ensimbi ezibade ziyamba okudukanya ebintu ebyenjawulo bwezikendede oluvanyuma lwa abavugirizi okudduka.

Okusinziira ku Dr. Mpanga Kaggwa nga naye ava mu mu kitongole kino (unicef ) agamba nti ensimbi zatandika okukendera okuviira dala mu mwaka gwa 2014 so nga obukenuzi sako nobulyake byebimu kubyavirako abantu be bweru okuvamu nga eggwanga.

Akakiiko akakola ku byembalirira y’ensimbi mu parliament kali mukawefube wokumaliriza okutunulamu mbalirira y’omwaka 2023/2024 era nga olunaku olw’enkya bakutwala ebiteeso mu parliament babikubaganyeko ebirowozo.Bajeti y’omwaka 2023/24 eri mu trillion 52.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *