Local

UNRA etekewo olutindo olwekiseera ku mugga Katonga olwaguddemu

15/05/2023

Akulira oludda oluwabula gavumenti mu Palamenti Mathias Mpuuga ayagala ekitongole ekivunanyizibwa ku nguudo ekya UNRA okussaawo olutindo olw’ekiseera ku luguudo oluva e Kampala okudda e masaka mu kifo ekyakutuddwa amazzi oluvannyuma lwo’mugga Katongo okubooga oluguudo nelutuuka okuggalwa.

Mathias Mpuuga okwogera bino abadde alambula ebitundu ebyakoseddwa omugga gwa Katonga bwegwabooga n’olutindo nerutuuka okugwamu nga kati oluguudo lwaggalawa .

Mpuuga agamba UNRA teteekeddwa kulinda bbanga lyeyawadde nti amazzi gamale okugwawo okutereeza oluguudo lwe masaka wabula wassibwewo olutindo olw’ekiseera nebweruba luyisa emmotoka emu emu emirimu giddemu okutambula kuba luno lubadde teruyisa basaabaze bokka wabula n’ebyenfuna by’eggwanga okuva n’okutwalibwa mu mawanga amalala kyagamba nti singa tekikolebwa kya kwongera okukosa ebyenfuna bye ggwanga n’okunyigiriza bannayuganda abakolerera emmere ya leero.


Okusinziira ku Mubaka Mpuuga bbo nga abakulembeze balina ebibuuzo bingi eri ekitongole ekivunanyizibwa ku butonde bwensi ki NEMA ku mbeera eno kubanga byonna ebizze biyisibwa Palament omuli okugoba abalimi b’omukyere mu ntobazi byazimuulwa dda nga kino ayagala bagyemu ekyokuyiga okwewala ebiyinza okuddirira.

Amyuka Ssentebe wa district ye Mpigi Hajati Aisha Nakirijja anyonyodde okusomoozebwa abatuuze mu bitundu ebiriranye omugga Katonga byebayitamu kati omuli obubbi obweyongedde,okukaluubirirwa mu by’obulamu ne birala.

Bya Namagembe Joweria

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *