Aba Almisibaahu basiibudde abagenda ku Umrah.
Ekibiina ekitambuza abantu abagenda okukola emikolo gya Hijja Ne Umrah ekya Almisibaahu Travel Agency kisiibudde abalamazi 35 abagenda kumikolo gya umrah mumwezi guno ogwa shaban 1445 oba ogwokubiri 2024.
Omukolo guno gubadde ku woteri ya 2K e Bukesa Mengo mu Kampala. Abalamazi abawerera ddala 35 bebagenda okutambula ne Almisibaahu travel agency.
Bwabadde asiibula abalamazi bano Sheik Miladi Kaluma asabye abalamazi banno okulekayo byonna byebabadde bakola badde eri Allah. Asabye abafunye omukisa guno okuyitiriza ennyo okwenenya,okusaba Allah,wamu nokusabira abantu babwe. Ono agambye nti guno gubeera mukisa gwamnayi era buli omu asanidde okugwebaza.
Sheik Hamis Mawejje Elias Omugalanda akulira ekibiina kya Almisibaahu Travel Agency asiimye nnyo abalamazi abazze babatekamu obwesige olw’empereza yabwe ennungi kubanga ekigendererwa kyabwe kyakwanguyiriza bagenyi ba Allah mukukola emikolo gya Hijja ne Umrah. Agambye nti abalamazi bakusitula kukisawe entebbe kulwokuna lwa sabiti eno kumakya esawa ttano ez’okumakya era bakutuukira mukibuga kya Nabbi E Madinah gyebanamala ennaku ttano oluvanyuma bolekere e Makkah okukola emikolo nayo gyebanamala ennaku ttano.
Sheik Hamis Mawejje asabye okugoberera ennyo amateeka g’ensi gyebalaga wamu nokwesigamira enyo Allah mubuli nsonga. Abakalatide okukozesa akakisa mubibuga bino ebyomuwendo okusaba Allah byebetaga wamu nokwenenya tekako okola Ibadah olutatadde kubanga mukisa munene ddala.
Bya Ismail Tenywa